YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 44

44
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola. Masukiri.
Katonda atuyamba bulijjo
1Twawuliranga n'amatu gaffe, Ayi Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga,
Eby'amagero bye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.#Kuv 10:2; 13:8,14, Zab 77:5; 78:3
2N'omukono gwo wagobamu amawanga, n'oteekamu bajjajjaffe;
Wabonyaabonya amawanga, naye ababo n'obawa eddembe ddala.#Kuv 15:17, Yos 3:10, Zab 80:8
3Kubanga abantu bo tebaawangula nsi olw'ekitala kyabwe,
Newakubadde amaanyi gaabwe si ge gabalokola;
Wabula omukono gwo ogwa ddyo, n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go,
kubanga wabasanyukira.#Ma 10:15, Yos 24:12, Kos 1:7
4Ggwe oli kabaka wange, era Katonda wange:
Owa obulokozi eri Yakobo abantu bo.#Zab 74:12
5Olw'obuyinza bwo tuwangula abalabe baffe;
Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo bonna abatugolokokerako.#Zab 60:12, Dan 8:4
6Kubanga ssiryesiga mutego gwange,
So ekitala kyange si kye kirindokola.#1 Sam 17:47, Zab 33:16
7Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe,
Era wabaswaza abatukyawa.
8Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba,
Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna.#Zab 34:2 (Seera)
9Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi;
So tokyatabaala n'eggye lyaffe.#2 Sam 5:24, Zab 60:1,10; 74:1; 108:11
10Watuleka ne tudduka abalabe baffe;
N'abo abatukyawa ne banyaga n'ebyaffe.#Leev 26:17, Yos 7:8,12
11Watuwaayo ng'endiga ez'okuttibwa;
Watusaasaanya mu mawanga.#Ma 4:27; 28:64, 2 Bassek 17:6, Zab 106:27, Ez 20:23, Luk 21:24
12Abantu bo wabatunda omuwendo mutono nnyo,
tewasaba muwendo gwa waggulu mu bo.#Balam 2:14; 3:8, Is 52:3
13Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe,
Ekinyoomebwa era ekisekererwa, eri abo abatwetoolodde.#Zab 79:4; 80:6
14Otufuula olufumo mu mawanga,
ekisekererwa mu bantu.#Yer 24:9
15Obudde okuziba okunyoomebwa kunjolekedde,
Nzenna ensonyi zinsaanikidde,
16Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, era avuma;
N'okulaba kw'omulabe n'oyo awooleera eggwanga.#Zab 8:2
17Ebyo byonna bitutuuseeko; naye
tetukwerabidde,
So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.#Dan 9:13
18Omutima gwaffe teguzze mabega,
So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;#Zab 119:157
19Naye ggwe watusuula awali emisege,
N'otuleka mu kizikiza ekikutte.
20Singa twerabidde erinnya lya Katonda waffe,
oba okugolola emikono eri katonda omulala,
21Ekyo Katonda talikizuula?
Kubanga ebyama byonna eby'omu mutima abimanyi.#1 Sam 16:7, Zab 139:1, Yok 2:25, Bar 2:16, Beb 4:13
22Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe;
Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.#Bar 8:36
23Zuukuka, kiki ekikwebasa, Ayi Mukama?
Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.#Zab 7:6; 44:9
24Kiki ekikukwesezza amaaso go,
N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?#Yob 13:24
25Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu;
Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.#Zab 119:25
26Golokoka otuyambe!
Otununule olw'ekisa kyo!#Zab 25:22

Currently Selected:

Zabbuli 44: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in