Zabbuli 42
42
Ekitabo eky'okubiri
(Zab 42—72)
Ya mukulu w'abayimbi; Masukiri ya batabani ba Koola.
Okusaba kw'omuntu ali mu buzibu
1Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi,
Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.#Yo 1:20
2Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, omulamu.
Ndijja ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?#Zab 63:1; 84:2,7, Is 55:1, Yok 7:37, 1 Bas 1:9
3Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro,
So nga abantu baŋŋamba obudde okuziba nti, “Katonda wo ali luda wa?”#Zab 80:5; 115:2, Mi 7:10
4Bino mbijjukira, ne nzijjayo ebiri mu mmeeme yange,
Engeri gye nnagenda n'ekibiina ky'abantu,
ne mbakulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda,
N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza,
ekibiina ekyegendereza ekyekuuma ebijjaguzo.#1 Sam 1:15, 2 Sam 6:15, Zab 62:8, Is 30:29
5Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange?
Era kiki ekikweraliikiriza?
Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza,
omuyambi wange,#Zab 43:5; 77:3, Kung 3:24, Mat 26:38, Yok 12:27
6era Katonda wange. Ayi Katonda wange, emmeeme yange yeenyika munda mu nze,
Bw'entyo nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yoludaani,
Era ne ku nsozi za Kerumooni, ne ku kasozi Mizali,#Ma 3:9, Yon 2:7
7Obuziba bukoowoola obuziba, olw'okubwatuuka kw'ebiyiriro byo;
Amayengo go gonna n'amasingiisira go bimpiseeko.#Zab 88:7, Yon 2:3
8Naye Mukama anaalaganga ekisa kye emisana,
N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange,
essaala eri Katonda ow'obulamu bwange.#Ma 28:8, Yob 35:10, Zab 77:6; 133:3; 149:5
9Ne ŋŋamba Katonda olwazi lwange nti, “Kiki ekikunneerabizza?”
Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okuyiganyizibwa abalabe bange?#2 Sam 22:2, Zab 38:6
10Ng'ekitala mu magumba gange, njigganyizibwa ebivumo byabwe;
Nga bambuuza obutayosa nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
11Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange?
Era kiki ekikweraliikiriza?
Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza,
omuyambi wange era Katonda wange.
Currently Selected:
Zabbuli 42: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.