Zabbuli 41
41
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Okuyamba abali mu bwetaavu
1Wa mukisa oyo alumirwa abaavu;
Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi.#Nge 14:21, Mak 10:21
2Mukama anaamukuumanga,
anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi.
Taweebwengayo eri abalabe be okumukola bye baagala.#Zab 27:12
3Mukama anaamujjanjabanga ng'ali ku kitanda alwadde.
Anaawonyezebwanga obulumi bwe bwonna.
4N'agamba nti, “Ayi Mukama, onsaasire,
Omponye,
kubanga nnyonoonye ggwe.#Zab 6:2; 147:3
5Abalabe bange banjogerako obubi nti,
‘Alifa ddi, erinnya lye ne libula?’
6Abajja okundaba,
boogera ebitaliimu.
Banoonya ebibi eby'okunjogerako,
Bwe bava wendi, nebabyogera buli wantu.#Zab 12:2; 144:8
7Bonna abankyawa bangeyera wamu:
Ebisinga obubi bye bandowoozaako.
8Boogera nti, ‘Endwadde embi emukutte,
Kaakano nga bw'agalamidde, tagenda kuwona.’
9Era ne munnange, mukwano gwange, nze gwe nneesiga,
eyalyanga ku mmere yange,
Anefuulidde.#2 Sam 15:12, Zab 55:12,13, Yer 20:10, Ob 7, Mak 14:18, Yok 13:18
10Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, omponye,
Ndyoke mbawoolere eggwanga.
11Ntegedde nga onjagala,
Kubanga omulabe wange tampangudde.#2 Sam 15:25,26
12Onywezeza olw'obutuukirivu bwange,
Ontadde mu maaso go ennaku zonna.#Yob 36:7, Zab 63:8
13Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri,
Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe.
Amiina, era Amiina.”#Zab 72:18; 106:48, Luk 1:68
Currently Selected:
Zabbuli 41: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.