YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 3

3
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Abusaalomu mutabani we.
Okusaba obukuumi
1Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde!
Abayimuka okunnumba bangi.#2 Sam 15:12
2Bangi abanjogerako nga bagamba nti,
“Katonda taamuyambe.” #Zab 71:11(Seera)
3Naye ggwe, Ayi Mukama, oli ngabo enkuuma.
Gwe Kitiibwa kyange, era ampanirira.#Lub 15:1, Zab 27:6; 28:7; 119:114
4Nkoowoola Mukama,
N'anziramu ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.#Zab 2:6 (Seera)
5Ngalamira ne nneebaka,
Ne nzuukuka, kubanga Mukama ampanirira.#Zab 4:8, Nge 3:24
6Sitya nkumi na nkumi z'abalabe,
Abanneetooloola okunnumba.#Zab 27:3; 84:3
7Yimuka, Ayi Mukama, ondokole, Ayi Katonda wange:
Kubanga okuba abalabe bange bonna ku ttama,
N'omenya amannyo g'ababi.#Zab 10:12; 58:6
8Obulokozi buva eri Mukama,
omukisa gwo gubeere ku bantu bo.#Zab 37:39, Nge 21:31, Yer 3:23, Yon 2:9 (Seera)

Currently Selected:

Zabbuli 3: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in