YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 2

2
Kabaka omulonde wa Mukama
1 # Bik 4:25,26 Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga,
N'abantu kiki ekibalowoozesa ebitaliimu?#Zab 46:6
2Bakabaka ab'ensi bateekateeka,
N'abafuga bateesezza ebigambo wamu,
Ku Mukama ne ku Masiya we nga bagamba nti,#Zab 18:50; 45:7
3“Ka tukutule enjegere zaabwe,
Tweggyeko ekikoligo kyabwe.”#Yer 5:5
4Atuula mu ggulu abasekerera,
Mukama alibaduulira.#Zab 11:4; 37:13, Nge 1:26
5Aliyogera nabo ng'asunguwadde,
N'abatiisa ng'aswakidde.
6“Nnateeka kabaka wange
Ku lusozi lwange olutukuvu, Sayuuni.”#Zab 3:4; 15:1; 43:3
7Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama,
Mukama yaŋŋamba nti, “Ggwe oli mwana wange,
Olwa leero nkuzadde.”#Bik 13:33, Beb 1:5; 5:5
8Nsaba nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo,
N'ensi yonna okubeera eyiyo.#Zab 72:8, Dan 7:14
9Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma;
Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi.#Is 30:14, Kub 2:27
10Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka,
Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi.
11Muweereze Mukama n'okutya,
N'okukankana.#Beb 12:28
12Munywegere omwana, aleme okusunguwala,
si kulwa nga muzikirizibwa,
Kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Ba mukisa abo bonna abamweyuna.#Zab 34:8; 84:12, Yer 17:7

Currently Selected:

Zabbuli 2: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in