YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 28

28
Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba okukuumibwa eri ababi
1Ayi Mukama, Ggwe nkoowoola,
Olwazi lwange, togaana kumpulira.
Bw'ononsirikirira,
Nja kuba ng'abo abakka emagombe.#Zab 18:2; 31:3; 35:22; 143:7
2Wulira okukaaba kwange nga nkusaba onnyambe,
Nga nnyimusa emikono gyange eri ekifo kyo ekitukuvu.#1 Bassek 8:29, Zab 5:7; 134:2; 140:6
3Tontwalira mu boonoonyi,
N'abo abakola ebibi,
Aboogera ne bannaabwe eby'emirembe,
Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.#Zab 26:9, Yer 9:8
4Obabonereze ng'emirimu gyabwe bwe giri, era ng'obubi bwabwe bwe buli.
Bawe empeera
Esaanira emirimu gyabwe.#Yer 50:15,29, 2 Tim 4:14, Kub 18:6; 22:12
5Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama,
Newakubadde emikono gye bye gikola,
Alibamenyaamenya so talibazimba.#Is 5:12, Yob 39:1-3
6Atenderezebwe Mukama,
Kubanga awulidde bye mmusaba.
7Mukama ge maanyi gange era
ye ngabo yange.
Omutima gwange gumwesiga, annyamba.
Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo,
Nnaayimbanga okumutendereza.#Zab 3:3; 69:30
8Mukama ge maanyi g'abantu be,
Kye kinnunulo eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.#Zab 20:6; 140:7
9Lokola abantu bo, obawenga omukisa,
Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.#Ma 9:29, 1 Bassek 8:51, Zab 78:71,72, Is 63:9

Currently Selected:

Zabbuli 28: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in