Zabbuli 27
27
Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba obugumu
1Mukama kye kitangaala kyange era ye mulokozi wange,
ani gwe nnaatya?
Mukama ya nkuuma,
ani anankankanya?#Kuv 15:2, Zab 23:4, Is 12:2; 60:20, Mi 7:8, Beb 13:6
2Abantu ababi bwe bannumba nga baagala okunzita,
Be balabe bange era abankyawa, baneesittala ne bagwa.
3Eggye eddamba ne bwe lisiisira okunnwanyisa,
Omutima gwange tegugenda kutya.
Ne bwe nnumbibwa mu lutalo,
Nsigala ndi mugumu.#Zab 3:6
4Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga;
Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange,
Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama,
n'okumwebuuzangako mu Yeekaalu ye.#Zab 23:6; 26:8; 84:1,2; 90:17, Luk 2:37
5Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye.
Ali nkweka mu weema ye aweekusifu,
Waggulu ku lwazi.#Zab 31:20; 40:2, Is 4:6
6Bwentyo bwe n'awangula abalabe bange abanneetooloodde.
Era n'awaayo mu weema ye ssaddaaka nga nsanyuka,
Ne nnyimba ne ntendereza Mukama.#Zab 3:3, Bef 5:19
7Wulira, ayi Mukama, okukaaba kwange,
Onsaasire, onziremu.#Zab 30:10
8Bwe wagamba nti, “Munoonye amaaso gange,”
omutima gwange gwakugamba nti,
“Ggwe gwe nnaannoonyanga”#Zab 24:6
9Tonneekweka.
Togoba muddu wo mu busungu.
Ggwe obadde omuyambi wange,
Tonsuula, era tondeka, ayi Katonda Omulokozi wange.#Zab 24:5; 69:17; 102:2
10Kubanga kitange ne mmange bandese,
Naye Mukama anandabiriranga.#Is 49:15, Yok 16:32, 2 Tim 4:16,17
11Onjigirizenga ekkubo lyo, ayi Mukama;
Era onnuŋŋamyenga mu kakubo akaterevu,
Kubanga nnina abalabe bangi.#Zab 5:8; 25:4
12Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala,
Bannumba nga bampaayiriza,
nga bajjudde obukambwe.#Zab 35:11; 41:2, Mat 26:59,60, Mak 14:55,56
13Nzikiriza nti ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu.#Kuv 33:19, Zab 142:5, Is 38:11
14Lindirira Mukama,
Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
Weewaawo, lindirira Mukama.#Yos 1:6, Zab 31:24; 37:34, Is 25:9
Currently Selected:
Zabbuli 27: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.