YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 29

29
Zabbuli ya Dawudi.
Katonda ow'ekitalo
1 # Zab 96:7-9 Mmwe ab'omu ggulu,
Mumutendereze Mukama,
2Muwe ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira.
Mumusinze Mukama mu butuukirivu bwonna.#Zab 89:6
3Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi,
Katonda ow'ekitiibwa abwatuka,
Eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.#Yob 37:4,5, Zab 18:11,13
4Eddoboozi lya Mukama lya maanyi;
Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.#Zab 68:33
5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule,
Mukama amenyaamenya emivule gy'omu Lebanooni.
6Ensozi z'omu Lebanooni azizinyisa ng'ennyana,
Olusozi Siriyooni
ne luzina ng'embogo ento.#Ma 3:9, Zab 114:4,6
7Eddoboozi lya Mukama livaamu
ennimi ez'omuliro.
8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo,
Era likunkumulira ddala amakoola g'amabira.
Era mu Yeekaalu ye buli kintu
kyogera nti, “Ekitiibwa.”#Yob 39:1-3
10Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba;
Weewaawo, Mukama atuula nga
kabaka emirembe gyonna.#Lub 6:17, Zab 10:16
11Mukama awa abantu be amaanyi.
Mukama omukisa gw'awa abantu be gye mirembe.#Zab 68:35, Is 40:29

Currently Selected:

Zabbuli 29: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in