Zabbuli 26
26
Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba okusonyiyibwa
1Ayi Mukama, onsalire omusango nsinge,
kubanga ntambulira mu butuukirivu bwange,
Era nneesiga Mukama awatali kubuusabuusa.#Zab 7:8; 11:1
2Nkebera, ayi Mukama, ongeze,
Olabe emmeeme yange n'omutima gwange.#Zab 7:9; 17:3
3Kubanga ekisa kyo kye kinnuŋŋamya,
Era ntambulira mu mazima go.#2 Bassek 20:3, Zab 25:10
4Siituula wamu na bantu abalimba,
Era sseetaba na bakuusakuusa.
5Nkyawa ekibiina ky'abo abakola obubi,
Era situula wamu na babi.#Zab 139:21,22
6Nnanaaba mu ngalo zange okulaga bwe sirina musango,
Nendyoka nnetooloola ekyoto kyo, ayi Mukama,#Kuv 30:19,20, Zab 73:13
7Nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza.
Nnaayongeranga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo.#Zab 9:1
8Ayi Mukama, njagala okubeera mu nnyumba yo,
N'ekifo omubeera ekitiibwa kyo.#Zab 27:4
9Tonzikiriza wamu
n'abalina ebibi,
Era wamu n'abantu abatemu.#Zab 28:3
10Bo bakozi ba bibi,
Era bali ba nguzi.#Ma 16:19
11Naye nze nnaatambuliranga mu butuukirivu bwange.
Nsaasira, onnunule.#Zab 5:8; 25:4
12Nnyimiridde mu kifo ekitereevu,
Nneebazanga Mukama mu kibiina ky'abantu.#Zab 22:25
Currently Selected:
Zabbuli 26: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.