YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 25

25
Zabbuli ya Dawudi.
Katonda ow'okusaasira
1Gy'oli, ayi Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.#Zab 143:8, Kung 3:41
2Ayi Katonda wange, nnaakwesiganga ggwe,
Tondeka kuswala,
Toleka balabe bange kunneewaanirako.#Zab 25:20; 31:1; 71:1
3Tewali akulindirira aliswazibwa,
Baliswazibwa abo abasala enkwe ez'obwereere.#Is 49:23, Yer 3:20, Bar 10:11
4Ondage amakubo go, ayi Mukama,
Onjigirize empenda zo.#Kuv 33:13, Zab 27:11
5Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize,
Kubanga ggwe Katonda wange andokola,
Ggwe gwe nneesiga bulijjo.#Zab 86:11
6Jjukira, ayi Mukama, okusaasira kwo okutaggwaawo n'ekisa kyo,
Kubanga byaliwo okuva edda n'edda lyonna.#Lub 9:15; 19:29, Zab 51:1
7Tojjukira bibi bya buvubuka bwange,
newakubadde ensobi zange,
Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri,
Olw'obulungi bwo, ayi Mukama.#Yob 13:26, Yer 3:25
8Mukama mulungi era wa mazima,
Kyava ayigiriza ekkubo abalina ebibi.#Zab 32:8; 100:5
9Abeetoowaze anaabaluŋŋamyanga
Mu kusala omusango,
Era abeetoowaze anaabayigirizanga ekkubo lye.
10Amakubo gonna aga Mukama
kye kisa n'amazima
Eri abo abatuukiriza endagaano ye n'ebiragiro bye.
11Olw'erinnya lyo, ayi Mukama,
Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.#Zab 31:3; 79:9, Bar 5:20
12Omuntu atya Mukama aluwa?
Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'agwanira okukwata.#Zab 32:8
13Ye yennyini alifuna ebirungi,
N'ezzadde lye lirisikira ensi.#Zab 37:9; 112:2, Nge 1:33
14Omukwano gwa Mukama guli mw'abo abamutya,
Era anaabalaganga endagaano ye.#Yob 29:4, Am 3:7
15Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna,
Kubanga ye yaggya ebigere byange mu kyambika.#Zab 31:4; 123:1,2
16Onkyukire, onsaasire,
Kubanga ndekeddwa bw'omu mbonaabona.#Zab 86:16
17Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange,
Nzigya mu bibonoobono byange.
18Lowooza ku bunaku bwange n'okutegana kwange,
Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
19Laba abalabe bange, kubanga bangi,
Era bankyawa n'obukambwe.
20Kuuma obulamu bwange, omponye,
Tondeka kuswala,
kubanga ggwe nneesiga.#Zab 25:2
21Obutuukirivu n'amazima binkuumenga,
Kubanga nnindirira ggwe.
22Ayi Katonda, nunula Isiraeri,
Mu bibonoobono bye byonna.#2 Sam 4:9, Zab 34:22; 130:8

Currently Selected:

Zabbuli 25: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 25