Zabbuli 24
24
Zabbuli ya Dawudi.
Obukulu bwa Mukama
1Ensi ya Mukama, n'ebigirimu byonna,
Ensi yonna, n'abo abagirimu.#Kuv 9:29, Yob 41:11, Zab 50:12; 89:11, 1 Kol 10:26
2Ye yagiteeka ku nnyanja,
Ye yaginyweza ku mazzi amangi.#Zab 136:6, Nge 8:29
3Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama?
Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?#Zab 15:1-5
4Oyo akola ebirungi, era ow'omutima omulongoofu.
Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu,
So teyalayiranga bya bulimba.#Yob 22:30, Zab 73:1; 119:37, Mat 5:8
5Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa,
Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.#Lub 22:17,18, Zab 27:9; 51:14; 88:1, Is 46:13
6Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya,
Abanoonya amaaso go, ayi Katonda wa Yakobo. #Zab 105:4(Seera)
7Mugguleewo emiryango,
Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala,
Kabaka ow'ekitiibwa ayingire.#Zab 118:19,20, 1 Kol 2:8
8Kabaka ow'ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow'amaanyi n'obuyinza,
Mukama omuzira mu lutalo.#Kuv 15:3
9Mugguleewo emiryango,
Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala,
Kabaka ow'ekitiibwa ayingire.
10Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani?
Mukama ow'eggye,
Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa.#Mal 1:14 (Seera)
Currently Selected:
Zabbuli 24: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.