Zabbuli 20
20
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Katonda omusaasizi
1Mukama addemu okusaba kwo ku lunaku
olw'obuyinike.
Katonda wa Yakobo
akukuume,#Lub 35:3, Zab 59:1
2Akuyambe ng'asinziira mu
kifo ekitukuvu,
Akubeere ng'asinziira mu Sayuuni.
3Ajjukire bye wawaayo byonna,
Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; #Bik 10:4(Seera)
4Akuwe omutima gwo kye gwagala,
Atuukirize okuteesa kwo kwonna.#Zab 21:2
5Tuleekaane olw'essanyu ng'owangudde.
Mu linnya lya Katonda waffe tuwanike ebendera zaffe.
Mukama akuwe by'osaba byonna.#1 Sam 17:45, Zab 60:4,7,8, Bar 7:12
6Kaakano mmanyi nga Mukama ayamba oyo gwe yasiiga amafuta;
Amuddamu ng'asinziira mu ggulu lye ettukuvu
Olw'obuyinza bwe, amusobozesa okuwangula.#Zab 28:8
7Abamu beesiga amagaali,
abalala beesiga embalaasi.
Naye ffe twesiga maanyi ga Mukama Katonda waffe.#2 Byom 32:8, Nge 21:31, Is 31:1
8Abantu abo balineguka ne bagwa,
Naye ffe tuligolokoka ne tuyimirira.
9Wa kabaka okuwangula.
Ayi Mukama otuddemu bwe tukoowoola.
Currently Selected:
Zabbuli 20: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.