Zabbuli 21
21
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Okwebaza obuwanguzi
1Mu maanyi go, ayi Mukama, Kabaka asanyuka,
Akugulumiza nnyo,#Zab 28:7,8
2Kubanga omuyambye okuwangula.
So tomummye ye yennyini ky'akusabye.#Zab 88:1 (Seera)
3Ozze gyali n'emikisa emingi ddala,
N'omutikkira ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi.#Leev 19:2, Zab 80:1; 147:12
4Yakusaba obulamu,
N'omuwa okuwangaala emirembe n'emirembe.
5Ekitiibwa kye kingi olw'obuyinza bwo,
Wamuwa ekitiibwa n'ettendo.#Zab 96:6
6Omufudde ow'omukisa omungi emirembe gyonna:
Okubeerawo kwo kumusanyusa.#Zab 16:11
7Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.#Zab 16:8; 91:2
8Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna:
Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
9Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo.
Mukama alibamira mu kiruyi kye,
N'omuliro gulibalya.#Zab 50:3, Is 26:11, Mal 4:1
10Abaana baabwe olibazikiriza ku nsi,
N'obamalirawo ddala mu baana b'abantu.#1 Bassek 13:34, Zab 37:28, Is 14:20
11Ne bwe baliteesa okumukolako akabi,
Ne bwe balisala enkwe, tebalisobola,
12Kubanga olibafummuula,
Olibaleegamu obusaale mu maaso,
Ne bakyuka ne badduka.#Zab 11:2; 18:40
13Ogulumizibwenga, ayi Mukama, olw'amaanyi go,
Tunaayimbanga ne tutendereza obuyinza bwo.
Currently Selected:
Zabbuli 21: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.