YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 19

19
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Ekitiibwa kya Katonda mu bye yatonda
1Eggulu liraga ekitiibwa kya Katonda,
N'ebiri mu bbanga byoleka omulimu gwe.#Bar 1:20
2Buli lunaku oluggwako lutegeeza oluddirira.
N'ekiro kitegeeza kinnaakyo ekiddirira.
3Tebirina bigambo newakubadde olulimi,
Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna,
N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi.
Ku ggulu Katonda kwe yateeka ekisulo ky'enjuba,#Bar 10:18
5Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye,
Era esanyuka ng'ow'amaanyi
Nga etandiika olugendo lwayo.#Balam 5:31, Bik 10:4
6Evaayo ku ludda olumu olw'eggulu,
Ne yeetooloola okutuuka ku ludda olulala.
So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.#Mub 1:5, Zab 21:2
7Etteeka lya Mukama lyatuukirira,
erikomyawo emmeeme.
Ebiragiro bya Mukama bye sigika,
biwa abatamanyi amagezi.#Mat 11:25, 2 Tim 3:15
8Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima.
Ekiragiro kya Mukama kitukuvu,
kireeta okutegeera.#Zab 12:6; 13:3
9Okutya Mukama kulungi,
kusigalawo emirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya mazima,
bya butuukirivu ddala.#Zab 119:142,151
10Bisaanira okubiyaayaanira okusinga zaabu,
zaabu omulungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.#Zab 119:103,127
11Era ebyo bye birabula omuddu wo.
Okubikuuma kulimu empeera ennene.
12Ani ayinza okukebera ebyonoono bye?
Nziggyako ebibi bibi ebikisiddwa.#Yob 34:32, Zab 90:8, 1 Kol 4:4
13Nze omuddu wo onziggye mu bujeemu bwonna,
Buleme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira,
Omusango ogw'okwonoona guleme okumbaako.#Kubal 15:30, 1 Sam 25:33,34,39, Zab 119:133, Bar 6:12,14
14Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.#Yob 19:25

Currently Selected:

Zabbuli 19: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in