YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 1

1
Ekitabo ekisooka
(Zab 1—41)
Engeri y'okufuna omukisa
1Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi,
Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi,
Newakubadde okutuula mu ntebe z'abanyooma.#Nge 4:14; 21:24
2Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa,
Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.#Yos 1:8, Zab 119:47,97, Bar 7:22
3Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi,
Ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaagwo.
Amalagala gaagwo tegawotoka,
Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.#Lub 39:3,23, Ez 47:12
4Naye ababi si bwe bali,
Bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.#Yob 21:18
5Ababi kyebaliva balema okugumira omusango,
Newakubadde abalina ebibi okubeera mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.#Zab 5:5
6Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu,
Naye ekkubo ly'ababi liribula.#Nak 1:7, Yok 10:4

Currently Selected:

Zabbuli 1: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in