YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 18

18
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama, eyagamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama lwe yamuwonyezaako mu mukono gw'abalabe be bonna, ne mu mukono gwa Sawulo. N'ayogera nti:
Amakubo ga Katonda ag'ekitalo
1Ayi Mukama, nkwagala, ggwe maanyi gange.
2 # 2 Sam 22:2-51 Mukama lwe lwazi lwange,
era kye kigo kyange, era ye andokola.
Katonda wange, olwazi lwange olunywevu,
oyo gwe ŋŋenda okwesiganga.
Ye ngabo yange, ge maanyi ag'obulokozi bwange,
ye yankuuma.#Lub 15:1, Ma 32:4, 1 Sam 2:2, Zab 9:9; 18:30,31; 31:3; 91:2, Luk 1:69, Beb 2:13
3Mukama asaanira okutenderezebwa:
mmukoowoola n'amponya abalabe bange.#Zab 48:1; 96:4
4Nali nneetooloddwa akabi ak'okufa,
Amayengo ag'okunzikiriza ne ganjiikako.#Zab 32:6; 116:3
5Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola:
Emitego egy'olumbe gyankwasa.
6Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama,
Ne mpita Katonda wange:
N'awulira eddoboozi lyange mu Yeekaalu ye,
Bye nnakaabira mu maaso ge naabiwulira.#Zab 11:4; 120:1, Yon 2:2
7Ensi yayuuguuma, n'ekankana.
Emisingi gy'ensozi gyajugumira, neginyeenyezebwa,
Kubanga yali asunguwadde.#Zab 77:18, Bik 4:31; 16:26
8Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
Omuliro ogusenkenya n'amanda agaaka,
Ne biva mu kamwa ke.#Zab 21:9
9Yakutamya eggulu n'akka,
N'ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye.#Kuv 20:21, Zab 144:5, Is 64:1
10Ne yeebagala kerubi n'abuuka:
N'agendera mangu ku
biwaawaatiro eby'empewo.#Zab 104:3
11Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu,
ne kimukweka.
Ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola.#Yob 36:29, Zab 97:2
12Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ne muva ebire ebikutte,
Amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
13Mukama n'abwatuka mu ggulu,
Eddoboozi ly'oyo ali waggulu ennyo ne liwulirwa,
Ne wabaawo amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.#1 Sam 2:10; 7:10, Yob 37:4, Zab 29:3-9, Is 30:30
14N'alasa obusaale bwe, abalabe be n'abasaasaanya.
N'abagoba n'okumyansa okungi.#Zab 77:17; 144:6, Kaab 3:11
15Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika,
Emisingi gy'ensi ne girabika,
Mu kunenya kwo, ayi Mukama,
Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo.#Kuv 15:8, Nak 1:4
16Mukama yasinziira mu ggulu, n'ankwata,
N'anzigya mu mazzi amangi.#Zab 144:7
17Yamponya eri ommulabe wange ow'amaanyi,
N'eri abo abankyawa,
kubanga nze, bansinza amaanyi.
18Bannumba nga ndi mu buzibu,
Naye Mukama ye nankuuma.
19Yantuusa mu kifo ekigazi,
Namponya kubanga yanjagala.#Zab 18:36; 22:8; 31:8; 118:5
20Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali;
Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde.#Luus 2:12, 1 Sam 24:19, 1 Bassek 8:32
21Kubanga n'akwata amakubo ga Mukama,
Ne siva ku Katonda wange nga nkola obubi.#Lub 18:19
22Nnakwata ebiragiro bye byonna,
Era ssaajeemera na mateeka ge.
23Saalina musango mu maaso ge,
Nneekuuma ne sikola kibi.#Lub 17:1, 1 Bassek 14:8
24Mukama kyavudde ansasula,
ng'obutuukirivu bwange bwe buli,
Kubanga nkola ebirungi mu maaso ge.
25Oli mwesigwa eri oyo omwesigwa,
Oli mutuukirivu eri oyo omutuukirivu.#Mat 5:7; 18:33
26Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu;
N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.#Leev 26:23,24, Nge 3:34, Bar 1:28
27Kubanga onoolokolanga abantu,
abajoogebwa,
Naye nootoowaza abo abeekulumbaza.#Kuv 3:7, Nge 6:17, Luk 1:51
28Ggwe ompa ekitangaala,
Mukama Katonda wange n'omulisa mu kizikiza kyange.#1 Bassek 11:36, Zab 132:17
29Ggwe onnyamba okulumba abalabe bange.
Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe.
30Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira,
Ekigambo kya Mukama kya mazima,
Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.#Ma 32:4, Zab 12:6; 18:2, Mat 5:48
31Kubanga ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?#Ma 32:31, Zab 86:8
32Katonda ampa amaanyi,
Era akuuma ekkubo lyange.#1 Sam 2:4, Zab 101:2,6
33Anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo:
Ankuumira waggulu ku nsozi.#Is 58:14, Kaab 3:19
34Anjigiriza okulwana,
Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo.#Zab 144:1
35Ompadde engabo ey'obulokozi bwo,
N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde,
N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.#Is 63:9
36Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange,
Siiseererenga kugwa.#Zab 18:36 Zab 18:19, Nge 4:12
37Ngoba abalabe bange, ne mbakwata,
Sikomawo nga sinnabazikiriza.
38Mbakuba wansi ne batayinza kuyimukawo,
Bagwa wansi w'ebigere byange.
39Kubanga ompadde amaanyi ag'okulwana,
Obafukamizza mu maaso gange abannumba.
40Waleetera abalabe bange okunziruka,
Abo abankyawa nnabazikiriza.#Kuv 23:27, Zab 21:12
41Baakoowoola ow'okubayamba nga tewaali abawonya.
Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu.#Yob 27:9, Nge 1:28
42Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo:
Ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo.
43Omponyezza okwegugunga kw'abantu;
Onfudde omufuzi w'amawanga.
Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.#2 Sam 3:1; 8:1-14; 19:9,43, Zab 2:8, Is 55:5
44Bwe baliwulira ebigambo byange,
ne balyoka baŋŋondera.
Bannaggwanga balinjeemulukukira.
45Bannaggwanga baliggwaawo,
Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana.#Mi 7:17
46Mukama mulamu: olwazi lwange atenderezebwe.
Agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange.
47Ye Katonda ampalanira eggwanga,
Era awangula amawanga ngafuge.#Zab 47:3
48Amponya eri abalabe bange.
Weewaawo, ompadde okufufuggaza abalabe bange,
Omponyeza eri abantu abakambwe.#Zab 59:1
49Kyenaavanga nkwebaza ggwe, ayi Mukama, mu mawanga,
Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo.#Bar 15:9
50Obuwanguzi abuwadde kabaka we,
Era amukoledde eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta,
Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.#2 Sam 7:12,13, Zab 2:2; 89:29; 144:10

Currently Selected:

Zabbuli 18: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in