Zabbuli 17
17
Okusaba kwa Dawudi.
Okusaba okusemberera Katonda
1Wulira ensonga ey'obutuukirivu,
ayi Mukama, lowooza ku kukaaba kwange,
Tega okutu owulire okusaba kwange,
okutaliimu bukuusa.#Zab 61:1; 142:6
2Ggwe oba osala omusango nsinge,
Kubanga ggwe omanyi ekituufu.
3Omanyi ekiri mu mutima gwange,
ne bw'ojja gye ndi ekiro,
Nkebera, tojja kunsangamu kibi.
Sijja kwonoona n'akamwa kange.#Yob 23:10, Zek 13:9, 1 Peet 1:7
4Sikola ng'abantu bwe bakola, nkwata ebiragiro byo.
Neewala amakubo ag'abantu ababi.
5Bulijjo ntambulira mu makubo go,
Sigavaangamu n'akatono.#Yob 23:11
6Nkukoowoola ggwe ayi Katonda, kubanga ggwe onoonziramu.
Tega okutu kwo, owulire bye njogera.#Zab 116:1,2
7Laga ekisa kyo eky'ekitalo,
ggwe alokola abakwesiga,
N'obawonya abalabe baabwe
8Onkuume ng'emmunye y'eriiso,
Nkweka mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo,#Ma 32:10, Luus 2:12, Zab 36:7; 91:4, Mat 23:37
9Omponye ababi abannyaga,
Abalabe bange abanzingiza okunzita.
10Tebalina kisa,
N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala.#Yob 15:27, Zab 73:7; 119:70, Is 6:10
11Kaakano banzingizizza buli gye nzira,
Beekaliriza, balyoke bankube wansi.#1 Sam 23:26
12Bali ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo,
Era ng'empologoma ento eyeekweka n'eteega.#Zab 10:9
13Golokoka, ayi Mukama,
Olwanyise abalabe bange,
Omponye omubi ng'okozesa ekitala kyo.
14Ayi Mukama, mponya,
Eri abantu ab'ensi,
abalowooleza mu mugabo ogw'obulamu buno
Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera,
Abaana baabwe bafune ebibamala,
Wafikkewo n'ebirimala abazzukulu.#Yob 21:8,11, Zab 10:18, Mat 6:2,5,16, Luk 16:8,25
15Naye nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu,
Ndimatira bwe ndizuukuka ne nkulaba.#Yob 19:26,27, Zab 11:7, 1 Yok 3:2
Currently Selected:
Zabbuli 17: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.