1
Zabbuli 18:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola. Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga. Ye ngabo yange, ge maanyi ag'obulokozi bwange, ye yankuuma.
Compare
Explore Zabbuli 18:2
2
Zabbuli 18:30
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, Ekigambo kya Mukama kya mazima, Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
Explore Zabbuli 18:30
3
Zabbuli 18:3
Mukama asaanira okutenderezebwa: mmukoowoola n'amponya abalabe bange.
Explore Zabbuli 18:3
4
Zabbuli 18:6
Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu Yeekaalu ye, Bye nnakaabira mu maaso ge naabiwulira.
Explore Zabbuli 18:6
5
Zabbuli 18:28
Ggwe ompa ekitangaala, Mukama Katonda wange n'omulisa mu kizikiza kyange.
Explore Zabbuli 18:28
6
Zabbuli 18:32
Katonda ampa amaanyi, Era akuuma ekkubo lyange.
Explore Zabbuli 18:32
7
Zabbuli 18:46
Mukama mulamu: olwazi lwange atenderezebwe. Agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange.
Explore Zabbuli 18:46