YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 16

16
Mikutamu ya Dawudi.
Obwesige mu Katonda
1Ayi Katonda, nkuuma,
kubanga nneesiga ggwe.#Zab 25:20
2Ŋŋamba Mukama nti, “Ggwe oli Mukama wange,
Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.”#Zab 73:25
3Abatukuvu abali mu nsi,
Abo be basinga obulungi,
be nsanyukira okubeera n'abo.#Ma 7:6, 1 Peet 2:9
4Abo abanoonyayo katonda omulala okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako.
Sijja kwetabanga mu ssaddaaka ez'okuyiwa omusaayi.
Era ssi yatulenga mannya ga ba katonda baabwe.#Kuv 23:13, Yos 23:7
5Mukama, gwe mugabo gwange, gwe nnonze.
Ggwe okuuma ebyange.#Kubal 18:20, Zab 23:5; 119:57
6Byonna by'ompadde birungi.
Mazima omugabo gwange mulungi ddala.#Zab 78:55
7Neebazanga Mukama, anuŋŋaamya,
Ate mu kiro emmeeme yange enjigiriza.
8 # Bik 2:25-28 Nkulembeza Mukama bulijjo.
Kubanga andi kumpi, sisagaasagaanenga.#Zab 109:31
9Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'emmeeme yange n'ejaguza.
Nzenna ne mbeera mu mirembe.
10Kubanga tolindeka mu magombe,
Era toliganya Omutukuvu wo kuvunda.#Zab 49:9,15, Mak 1:24, Luk 1:35, Bik 13:35
11Olindaga ekkubo ery'obulamu.
Gy'oli waliyo essanyu erijjuvu.
Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe.#Zab 21:6; 36:8, Mat 7:14

Currently Selected:

Zabbuli 16: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in