YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 15

15
Zabbuli ya Dawudi.
Omuntu omutuukirivu
1 # Zab 24:3-5 Ayi Mukama, ani anaatuulanga mu weema yo?
Ani anaabeeranga ku lusozi lwo
olutukuvu?#Zab 2:6
2Ye oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu,
Ayogera eby'amazima mu mutima gwe.#Zab 84:11; 106:3, Zek 8:16, Bef 4:25
3Era atawaayiriza.
Mukwano gwe tamukola kabi,
Era tasaasaanya ŋŋambo ku muliraanwa we.#Kuv 23:1, Leev 19:16
4Amaaso ge ganyooma omubi;
Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Bw'alayira ne bw'afiirwa, takyuka.#Yos 9:18-20, Balam 11:35, Es 3:2
5Atawolera bintu bye magoba.
Tagulirirwa kusaliriza atalina musango.
Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.#Kuv 23:8, Ma 16:19; 23:19, Ez 18:8

Currently Selected:

Zabbuli 15: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in