YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 143

143
Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba okuwanirirwa
1Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
otege okutu eri okwegayirira kwange.
Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.#Zab 140:6, 1 Yok 1:9
2So tosalanga musango gwa muddu wo;
Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga.#Yob 14:3; 25:4, Zab 130:3, Mub 7:20, Bar 3:23, 1 Kol 4:4
3Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange;
Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi.
Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.#Zab 88:3-6, Kung 3:6
4Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange;
Omutima gwange gwennyise.#Zab 77:3
5Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna,
Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo.#Zab 77:5,11,12
6Ngolola emikono gyange eri ggwe;
Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta,
ng'ettaka ekkalu.#Yob 11:13, Zab 42:2; 63:1 (Seera)
7Yanguwa okumpitaba, Ayi Mukama;
omwoyo gwange guggwaamu amaanyi;
Tonkisa maaso go;
nneme okufuuka ng'abo abakka mu bunnya.#Zab 27:9; 28:1; 69:17
8Leka mpulirenga ku nkya ku kwagala kwo;
kubanga ggwe nneesiga.
Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu;
kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.#Zab 25:1,4; 90:14
9Omponye, Ayi Mukama, eri abalabe bange;
Nziruka okujja gy'oli onkuume.#Zab 59:1
10Onjigirize okukolanga by'oyagala;
kubanga ggwe oli Katonda wange,
Omwoyo gwo mulungi ankulembere;
onnuŋŋamize mu kkubo ery'obutuukirivu.#Nek 9:20, Zab 23:3; 119:12, Is 26:10
11Olw'erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume;
Mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.#Zab 25:11; 71:20
12Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange,
Ozikirize abalabe bange bonna.
Kubanga ndi muddu wo.#Zab 54:5; 116:16

Currently Selected:

Zabbuli 143: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in