1
Zabbuli 143:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange, Omwoyo gwo mulungi ankulembere; onnuŋŋamize mu kkubo ery'obutuukirivu.
Compare
Explore Zabbuli 143:10
2
Zabbuli 143:8
Leka mpulirenga ku nkya ku kwagala kwo; kubanga ggwe nneesiga. Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
Explore Zabbuli 143:8
3
Zabbuli 143:9
Omponye, Ayi Mukama, eri abalabe bange; Nziruka okujja gy'oli onkuume.
Explore Zabbuli 143:9
4
Zabbuli 143:11
Olw'erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume; Mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
Explore Zabbuli 143:11
5
Zabbuli 143:1
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.
Explore Zabbuli 143:1
6
Zabbuli 143:7
Yanguwa okumpitaba, Ayi Mukama; omwoyo gwange guggwaamu amaanyi; Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakka mu bunnya.
Explore Zabbuli 143:7
7
Zabbuli 143:5
Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna, Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo.
Explore Zabbuli 143:5