YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 142

142
Masukiri ya Dawudi, bwe yali ali mu mpuku: okusaba.
Okusaba okuva mu kwemulugunya
1Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange;
N'eddoboozi lyange nneegayirira Mukama.#Zab 3:4; 30:8
2Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza;
Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza;#Is 26:16
3Omwoyo gwange bwe gunakuwala,
ggwe omanyi ekkubo lyange.
Bakwese omutego mu kkubo lye ntambuliramu.#Zab 77:3; 140:5
4Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo,
sirabayo anaambeera;
Ekiddukiro kimbuze;
tewali n'omu anfaako.#Zab 69:20
5Nnakukoowoola ggwe, Ayi Mukama;
N'ayogera nti, “Ggwe oli kiddukiro kyange,
Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu.#Zab 14:6; 27:13, Kung 3:24
6Owulire okukaaba kwange;
kubanga njeezebwa nnyo,
Omponye eri abo abanjigganya;
kubanga bansinga amaanyi.#Zab 17:1; 18:17; 79:8
7Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera,
nneebazenga erinnya lyo;
Abatuukirivu balinneetooloola;
Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.”#Zab 13:6, Is 42:7

Currently Selected:

Zabbuli 142: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in