Zabbuli 144
144
Zabbuli ya Dawudi.
Okwebaza Katonda olw'okuyamba abantu be
1Yeebazibwe Mukama olwazi lwange,
Atendeka emikono gyange okulwana,
n'engalo zange olutalo.#Zab 18:31,34
2olwazi lwange, era ekigo kyange,
Amaanyi gange era omulokozi wange,
Engabo yange mwe nneekweka.
Akkakkanya abantu wansi we.#Zab 18:2,47
3Mukama, omuntu kye ki, ggwe okumumanya?
Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako?#Zab 8:4
4Omuntu ali nga omukka.
Ennaku ze ziriŋŋaanga ekisiikirize ekiyita obuyisi.#Zab 39:5; 102:11
5Okutamye eggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
Kwata ku nsozi zinyooke omukka#Zab 18:9; 104:32, Is 64:1
6Myansa abalabe basaasaane,
Olase obusaale bwo, obateganye.#Zab 18:14
7Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu;
Omponye, onziggye mu mazzi amangi,
mu mukono gwa bannamawanga;#Zab 18:16; 69:14
8Aboogera eby'obulimba,
N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.#Zab 12:2, Is 62:8
9Nnaakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, Ayi Katonda;
N'ennanga erina enkoba ekkumi nnaayimbanga okukutendereza.#Zab 33:2,3
10Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi;
Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11Omponye, onziggye mu mukono gwa bannamawanga,
Aboogera eby'obulimba,
N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
12Batabani baffe mu buvubuka bwabwe,
babeere ng'emiti egikulidde ddala;
N'abawala baffe ng'empagi ez'omu nsonda
ezibajjibwa okuzimba olubiri lwa kabaka.#Zab 128:3
13Amawanika gaffe gajjule,
nga galina ebintu eby'engeri zonna;
N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe;#Leev 26:3-10
14Ente zaffe ziwake bulungi,
Nga tewali evaamu gwako, oba eremererwa okuzaala.
Waleme kubaawo kukaaba n'okwaziirana kwonna mu nguudo zaffe;#Is 24:11
15Abantu abaweereddwa emikisa eggyo beesiimye,
Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.#Ma 33:29, Zab 33:12; 146:5
Currently Selected:
Zabbuli 144: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.