Zabbuli 139
139
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Katonda amanyi abantu be
1Ayi Mukama, wannoonya nze, wammanya.#Zab 17:3; 44:21, Yer 12:3
2Omanyi bwe ntuula, era ne bwe ngolokoka,
Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.#2 Bassek 19:27, Kung 3:63, Mat 9:4, Yok 2:24,25
3Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange,
Era omanyi amagenda gange gonna.#Yob 31:4
4Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange,
Laba, Ayi Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala.#Beb 4:13
5Onzingizizza mu maaso n'emabega,
Era ontaddeko omukono gwo.
6Okumanya okuliŋŋaanga okwo kwa kitalo, kunnema;
Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.#Yob 42:3, Bar 11:33
7N'agenda wa okuva eri omwoyo gwo?
Oba naddukira wa amaaso go?#Yer 23:24, Yon 1:3
8Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli;
Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli.#Yob 26:6, Nge 15:11, Am 9:2
9Bwe nneebagala ebiwaawaatiro eby'enkya,
Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo;
10Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.#Zab 23:3
11Bwe ndyogera nti, “ Ekizikiza kimbuutikire,
N'omusana ogunneetoolodde gufuuke ekiro;”#Yob 22:13,14
12Naye era enzikiza gy'oli teba kizikiza,
Naye ekiro kyakaayakana ng'emisana;
Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.#Yob 34:22, Dan 2:22
13Kubanga ggwe olina omwoyo gwange;
Wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14Nkutendereza,
kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo;
Emirimu gyo gya kitalo;
N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.#Yob 5:9
15Tewakisibwa mubiri gwange,
Bwe nnakolerwa mu kyama,
Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.#Yob 10:8-11
16Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira,
Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.
Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku,
Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu.
17Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, Ayi Katonda!
Bwe bigattibwa awamu, nga bingi!#Zab 92:5
18Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu obungi;#Zab 40:5
Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
19Tolirema kutta babi, Ayi Katonda;
Kale muve gye ndi,
mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi.#Zab 6:8, Is 11:4
20Kubanga bakwogerako bubi,
N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo.#Kuv 20:7, Yud 15
21Ssibakyawa abo, Ayi Mukama, abakukyawa ggwe?
Ssinyiigira abo abakugolokokerako?#Zab 26:5
22Mbakyawa okukyawa okutuukiridde
Mbayita balabe bange.
23Onkebere, Ayi Katonda,
omanye omutima gwange;
Onkeme, omanye ebirowoozo byange;#Zab 26:2, Yer 17:10
24Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze,
Era onkulembere mu kkubo eritakoma.
Currently Selected:
Zabbuli 139: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.