Zabbuli 140
140
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Essaala ey'okununulwa n'okulamulwa mu bwenkanya
1Omponye, Ayi Mukama, eri omubi;
Onkuume eri abantu abakambwe;#Zab 18:48
2Abategeka okukola eby'ettima mu mutima gwabwe;
abanoonya entalo buli kiseera.
3Basongodde olulimi lwabwe ng'omusota;
Ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng'obw'essalambwa.#Zab 52:2; 58:4, Bar 3:13 (Seera)
4Onkuume, Ayi Mukama, eri emikono gy'ababi;
Omponye abantu abakambwe;
Abateesezza okunkyamya.#Zab 71:4
5Ab'amalala banteze omutego;
Banjuluza ekitimba kyabwe;
Batega emitego mu kkubo lyange.#Yob 18:8-10, Yer 18:22 (Seera)
6N'agamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, Ayi Mukama.#Zab 28:2
7Ayi Mukama, Mukama wange, omulokozi wange ow'amaanyi;
Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo.#Zab 28:8
8Tokkiriza, Ayi Mukama, omubi by'ayagala;
Tokkiriza nteeketeeka za mubi kutuukirira;
baleme okwegulumizanga.#Yob 5:12,13, Zab 35:25 (Seera)
9Abanneetooloodde#140:9 Mu Lwebbulaniya lugamba nti: Toleka balabe bange kumpangula, bye banjogerako bibaddire. baleke,
Eby'ettima bye boogera bibatuukeko.#Zab 7:16
10Amanda agookya gabagweko;
Basuulibwe mu muliro;
Mu bunnya obuwanvu,
baleme okugolokokanga nate.#Zab 11:6
11Ayogera obubi taanywerenga mu nsi;
Obubi bunaayigganyanga omuntu omukambwe.
12Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonyaabonyezebwa,
ayamba abeetaaga okuyisibwa mu bwenkanya.#1 Bassek 8:59, Zab 9:4
13Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo;
Ab'amazima balituula w'oli.#Zab 11:7; 64:10
Currently Selected:
Zabbuli 140: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.