YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 138

138
Zabbuli ya Dawudi.
Katonda afaayo eri abaweereza be
1Nneebazanga n'omutima gwange gwonna;
Mu maaso ga bakatonda nnaayimbanga okukutendereza.#Zab 95:3; 111:1
2Nnaasinzizanga eri Yeekaalu yo entukuvu,
Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go;
Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.#Zab 5:7, Yob 42:3, Bar 11:33
3Ku lunaku lwe nnakukoowoolerako wampitaba,
N'oŋŋumya mu mmeeme yange.
4Bakabaka bonna ab'ensi baanaakutenderezanga Ayi Mukama,
Kubanga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.#Zab 102:15
5Baanaayimbanga ku makubo ga Mukama;
Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi.
6Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu,
naye afaayo eri abo abeetoowaza;
Naye ab'amalala ababeera wala.#Zab 113:5,6, Nge 3:34, Luk 1:48, Yak 4:6
7Newakubadde nga nneetooloddwa ebizibu,
naye gwe okuuma obulamu bwange,
Ogolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange,
N'omukono gwo ogwa ddyo ondokola.#Zab 23:4; 71:20
8Mukama alituukiriza ebyo by'anteekeddeteekedde;
Okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna;
Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.#1 Byom 16:34, Zab 57:2, Baf 1:6

Currently Selected:

Zabbuli 138: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in