Zabbuli 112
112
Abatukuvu balina omukisa
1Mutendereze Mukama.
Alina omukisa oyo atya Mukama,
Asanyukira ennyo amateeka ge.#Zab 1:2; 104:35; 128:1
2Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi;
Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa.#Nge 20:7
3Ebintu n'obugagga biri mu nnyumba ye,
N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.#Nge 3:16; 15:6
4Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza,
Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.#Yob 11:17, Zab 111:4
5Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa era awola;
Akola ebintu bye mu bwenkanya.#Zab 37:26
6Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna;
Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo.#Zab 55:22, Nge 10:7
7Taatyenga mawulire mabi,
Omutima gwe gunywera,
nga gwesiga Mukama.#Zab 57:7, Nge 1:33
8Omutima gwe mugumu, taatyenga,
Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.#Zab 54:7
9Agabye nga bw'ayagala, awadde abaavu;
Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa.#Zab 75:10, Bar 12:13, 2 Kol 9:9, 1 Tim 6:18
10Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo;
Aliruma obujiji naye nga talina kya kukola.
Omubi by'ayagala tebimugasa.#Yob 8:13, Mat 8:12
Currently Selected:
Zabbuli 112: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.