Zabbuli 113
113
Katonda afaayo ku bali mu bwetaavu
1Mutendereze Mukama.
Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.#Zab 104:35; 135:1
2Erinnya lya Mukama lyebazibwenga
Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.#Yob 1:21, Zab 115:18, Dan 2:20
3Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba
Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.#Zab 48:10; 50:1, Mal 1:11
4Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna,
N'ekitiibwa kye kisinga eggulu.#Zab 8:1; 99:2
5Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
Alina entebe ye waggulu,#Zab 35:10; 138:6, Is 57:15
6Eyeetoowaza okutunuulira
Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
7Ayimusa omwavu okuva mu nfuufu,
Ajja ali mubwetaavu okuva mu ntuumo y'obusa.#1 Sam 2:8, Yob 36:7, Zab 107:41
8N'amutuuza wamu n'abalangira,
Abalangira ab'abantu be.
9Awa omukazi omugumba amaka,
N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana.
Mutendereze Mukama.#1 Sam 2:5, Zab 68:6
Currently Selected:
Zabbuli 113: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.