Zabbuli 11
11
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Katonda yekka kye kiddukiro
1Mu Mukama mwe muli ekiddukiro kyange.
muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Buuka ng'akanyonyi olage mu nsozi?”#1 Sam 23:14, Zab 25:2
2Kubanga, laba, ababi bateze omutego,
Batadde obusaale ku buguwa,
Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima.#Zab 64:4
3Oba nga emisingi girizikirizibwa,
Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola?
4Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu,
Entebe ye eri mu ggulu.
Amaaso ge galaba abaana b'abantu,
yeetegereza bye bakola.#Zab 33:13, Is 66:1, Kaab 2:20, Mat 5:34, Bik 7:49
5Mukama agezesa abatuukirivu n'ababi.
Naye akyawa oyo ayagala obutabanguko.#Lub 22:1, Zab 5:5, Yak 1:12
6Ababi abayiwako amanda g'omuliro n'obuganga.
Ababonereza n'empewo eyokya ennyo.#Lub 19:24, Zab 75:8, Ez 38:22
7Kubanga Mukama mutuukirivu,
ayagala ebikolwa ebirungi.
Abatuukirivu baliraba amaaso ge.#Zab 17:15; 33:5, 1 Yok 3:2, Kub 22:4
Currently Selected:
Zabbuli 11: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.