Zabbuli 12
12
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekiseminisi. Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba olw'abatya Mukama
1Yamba, Mukama; kubanga abatya Katonda baggwaawo,
ab'amazima bakendeera
mu bantu.#Is 57:1, Mi 7:2
2Balimbagana ne bawaanagana mu bukuusa,
Boogera n'emitima ebiri.#Zab 5:9, Yer 9:8, Bar 16:18, Yak 1:8
3Mukama sirisa aboogera eby'okwenyumiriza,
Aboogera eby'okwegulumiza.
4Aboogera nti, “N'olulimi lwaffe ge maanyi gaffe,
Tujja kwogera buli kye twagala, ani ayinza okutuziyiza?”
5Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe,
abali mu bwetaavu basinda,
Kaakano nnaayimuka, Mukama bw'ayogera.
Nnaamuteeka mu bukuumi bwe yeegomba.#Zab 9:12, Is 33:10
6Mukama by'asuubiza bya mazima,
Biri nga ffeeza eyisiddwa mu kyoto ky'omuliro,
Erongooseddwa emirundi omusanvu.#Zab 18:30; 119:140, Nge 30:5
7Ayi Mukama, tukuumenga bulijjo,
Otuwonye ababi ab'omulembe guno.
8Ababi babunye buli wantu,
N'obugwagwa bwe bugulumizibwa mu bantu!
Currently Selected:
Zabbuli 12: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.