Zabbuli 107
107
EKITABO EKYOKUTAANO
(Zab 107—150)
Okwebaza obulokozi bwa Katonda
1Mumwebaze Mukama;
kubanga mulungi;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 106:1
2Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo,
Be yanunula mu mukono gw'omulabe;#Zab 106:10, Is 62:12
3N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi,
Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba,
Mu bukiikakkono ne mu bwa ddyo.#Zab 106:47, Is 43:5,6; 49:12, Yer 29:14, Ez 39:27
4Abamu baataataaganira mu ddungu omutali bantu;
Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.#Ma 32:10
5Baalumibwa enjala n'ennyonta,
Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo.
6Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N'abawonya mu kweraliikirira kwabwe.#Zab 50:15; 106:44
7Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu,
Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu.#Ezer 8:21
8Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe,
N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
9Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba,
N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi.#Zab 34:10, Luk 1:53
10Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa,
Nga basibibwa n'ennaku n'ekyuma;#Yob 10:21; 36:8, Luk 1:79
11Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda,
Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo;#Zab 78:40; 106:43, Nge 1:30, Luk 7:30
12Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana;
Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.#Zab 22:11
13Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
14N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa,
N'amenyaamenya enjegere zaabwe.#Zab 107:10, Is 49:9
15Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe,
N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
16Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo,
N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma.#Is 45:2
17Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe,
N'olw'obutali butuukirivu bwabwe,
babonyaabonyezebwa.
18ne batamwa emmere yonna yonna;
Ne basemberera emiryango egy'okufa.#Yob 33:20,22
19Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
20Atuma ekigambo kye, n'abawonya,
N'abaggya mu kuzikirira kwabwe.#2 Bassek 20:5, Zab 103:3,4, Mat 8:8
21Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
22Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza,
Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba.#Zab 9:11; 50:14, Beb 13:15
23Abaserengetera ku nnyanja mu maato,
Abakola emirimu awali amazzi amangi;#Is 42:10
24Abo balaba ebikolwa bya Mukama,
N'eby'amagero bye mu buziba.
25Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga,
Oguyimusa amayengo gaagwo.#Yon 1:4
26Balinnya mu ggulu,
ne bakka nate mu ddubi:
Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku.#Zab 22:14
27Beesunda eruuyi n'eruuyi,
era batagatta ng'omutamiivu,
N'amagezi gonna nga gababuze.#Yob 12:25
28Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe,
N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe.
29Alaaza omuyaga,
Amayengo gaagwo ne gateeka.#Zab 65:7
30Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula;
N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.
31Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe,
N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
32Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu,
Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde.#Zab 22:22,25; 36:5; 113:4
33Afuula emigga eddungu,
N'enzizi azifuula ettaka ekkalu;#Is 42:15; 50:2, Nak 1:4
34Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo,
Olw'obubi bwabo abatuula omwo.#Lub 13:10; 19:24,28
35Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi,
N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi.#Yob 38:26,27, Is 35:7; 41:18
36Omwo mw'atuuza abalumwa enjala,
Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu;
37Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu,
Beefunirenga ebibala eby'ekyengera.
38Era n'abawa omukisa,
n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo;
N'ataganya nte zaabwe okukendeera.#Lub 12:2
39Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa
Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala.
40Anyoomesa nnyo abalangira,
Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo.#Yob 12:21,24
41Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku.
N'amukolera ebika ng'ekisibo.#1 Sam 2:8, Yob 21:11, Zab 113:7
42Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka;
N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo.#Yob 5:16; 22:19, Zab 63:11
43Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo,
Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.#Yer 9:12, Dan 12:10, Kos 14:9
Currently Selected:
Zabbuli 107: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.