Zabbuli 106
106
Okusaasira kwa Katonda okwolubeerera
1Mumutendereze Mukama!
Kale mumwebaze Mukama;
kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna!#1 Byom 16:34, Yer 33:11
2Ani ayinza okwatula ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama,
Oba okwolesa ettendo lye lyonna?
3Balina omukisa abakwata by'alagira,
N'abo abakola eby'obutuukirivu mu biro byonna!#Zab 15:2
4Onjijukire, Ayi Mukama,
n'ekisa ky'olina eri abantu bo;
Nkwegayiridde, onjijire n'obulokozi bwo:#Zab 119:132
5Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa,
Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo.
Neenyumirize wamu n'obusika bwo.
6Twayonoona ffe ne bajjajjaffe,
Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi.#Leev 26:40, 1 Bassek 8:47, Nek 1:6,7, Yer 14:20
7Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri;
Ne batajjukira kusaasira kwo okungi;
Naye ne bajeemera ku nnyanja,
ku Nnyanja Emmyufu.#Kuv 14:11,12, Zab 78:11
8Era naye n'abalokola olw'erinnya lye,
Amanyise obuyinza bwe obungi.#Kuv 9:16, Ez 20:9
9Era n'alagira Ennyanja Emmyufu, n'ekalira:
Awo n'abayisa mu buziba nga wakalu, nga bali ng'abayita mu ddungu.#Kuv 14:21, Is 51:10; 63:13
10N'abalokola eri omukono gw'oyo eyabakyawa,
N'abanunula mu mukono gw'omulabe.#Kuv 14:30, Zab 107:2
11Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe:
Ne watasigalawo n'omu.#Kuv 14:28
12Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye;
Ne bayimba okumutendereza.#Kuv 14:31; 15:1-21
13Naye beerabira mangu emirimu gye;
Tebaalindirira kuteesa kwe:#Kuv 15:24; 16:2, Zab 107:11
14Naye ne beegomba nnyo nga bali mu lukoola,
Ne bagezesa Katonda mu ddungu.#Kuv 17:2, Kubal 11:4, 1 Kol 10:6,9
15N'abawa bye baasaba;
Naye n'abaleetera endwadde enzibu nezireta obukovvu mu mmeeme yaabwe.#Zab 78:29, Is 10:16, 1 Byom 16:34, Yer 33:11
16Era ne bakwatirwa Musa obuggya nga bali mu lusiisira,
Ne Alooni omutukuvu wa Mukama.#Kubal 16:1-3
17Ensi n'eyasama n'emira Dasani.
N'eziika Abiraamu n'ekibiina kye.#Kubal 16:31,32
18Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe;
Ennimi zaagwo ne zookya ababi.#Kubal 16:35
19Ne bakolera ennyana mu Kolebu,
Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse.#Kuv 32:4, Bik 7:41
20Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kye bandiwadde Katonda;
Okuba ekifaananyi ky'ente erya omuddo.#Yer 2:11, Bar 1:23
21Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe,
Eyakolera ebikulu mu Misiri;#Zab 78:11,43
22Eby'amagero mu nsi ya Kaamu,
N'eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu.
23Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza,
Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge n'amwegayirira,
Okuziyiza obusungu bwe, aleme okubazikiriza.#Kuv 32:10,11, Ma 9:14,18, Ez 20:13
24Weewaawo, baanyooma ensi ey'okwesiima,
Tebakkiriza kigambo kye;#Kubal 14:31, Ma 9:23, Beb 3:18,19
25Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe,
Ne batawulira ddoboozi lya Mukama.#Kubal 14:2
26Kyeyava ayimusa omukono gwe gyebali,
Ng'alibasuulira mu ddungu:#Kubal 14:30, Ez 20:23
27Era ng'aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga,
Era ng'alibasaasaanya mu nsi.
28Era ne beegatta ne Baalipyoli,
Ne balya ssaddaaka ez'abafu.#Kubal 25:2,3, Kos 9:10, Kub 2:14
29Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n'ebikolwa byabwe;
Kawumpuli n'agwa mu bo.#Kubal 25:7,8
30Finekaasi n'alyoka ayimirira n'abonereza abaasobya:
Kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo.
31Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu,
Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo.#Kubal 25:10-13
32Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba,
Era bwatyo Musa n'alaba obubi ku lwabwe :#Kubal 20:2-13
33Kubanga baanakuwaza omwoyo gwe,
N'ayogera ebitali bya magezi
n'emimwa gye.
34Tebaazikiriza mawanga,
Nga Mukama bye yabalagira;#Ma 7:2, Balam 1:21,27-36
35Naye ne beegatta n'amawanga,
Ne bayiga empisa zaabwe:#Balam 3:5,6, Ezer 9:2, Is 2:6
36Ne baweereza ebifaananyi byabwe;
Ebyabafuukira ekyambika.#Balam 2:12,13, 2 Bassek 17:7-12
37Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani.#Ma 32:17, 2 Bassek 17:17, Is 57:5, Ez 16:20,21, 1 Kol 10:20
38Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi,
gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe,
Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani;
Ensi n'eyonooneka n'omusaayi.#Kubal 35:33
39Bwe batyo ne babaako empitambi olw'emirimu gyabwe,
Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe.#Ez 20:18,30,31
40Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be,
N'atamwa obusika bwe.#Balam 2:14, Nek 9:27, Zab 78:59,62
41N'abawaayo mu mukono gw'amawanga;
N'abo abaabakyawa ne babafuga.
42Era abalabe baabwe ne babajooga,
Ne bajeemulwa wansi w'omukono gwabwe.#Balam 4:3; 10:12
43Emirundi emingi yabawonya;
Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe,
Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.#Leev 26:39, Balam 2:16, Zab 81:12; 107:11
44Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe,
Bwe yawulira okukaaba kwabwe:#Balam 3:9; 6:6
45Olw'obulungi bwe najjuukira endagaano ye,
Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi.#Leev 26:42, Zab 90:13, Kung 3:32
46Era n'abaleetera okusaasirwanga;
Bonna abaabatwalanga mu busibe.#Ezer 9:9, Yer 42:12
47 #
1 Byom 16:35,36 Otulokole, Ayi Mukama Katonda waffe,
Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga,
Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu,
N'okujagulizanga ettendo lyo.#Zab 107:3
48Yeebazibwenga Mukama,
Katonda wa Isiraeri,
Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna.
Era abantu bonna boogere nti Amiina.
Mumutendereze Mukama.
Currently Selected:
Zabbuli 106: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.