Zabbuli 108
108
Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
Katonda atuleetera obuwanguzi
1 #
Zab 57:7-11
Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
Omutima gwange munywevu!
Naayimba, ne nkusuuta, okutendereza,
zuukuuka, ggwe mwoyo gwange!#Zab 112:7
2Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga:
Nze nnaakeera nnyo okuzuukuka.#1 Byom 15:16
3Nnaakwebazanga ggwe, Ayi Mukama, mu mawanga;
Era nnaayimbanga okukutendereza mu bantu.
4Kubanga okusaasira kwo kutuuka ku ggulu,
N'amazima go gatuuka ku bire.#Zab 36:5; 113:4
5Ogulumizibwe, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.#Zab 57:5
6Omwagalwa wo alyoke awone,
Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.#Zab 60:5-12
7Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu,
Olw'okugulumizibwa, ndisala mu Sekemu,
era ndigabaanyamu ekiwonvu ekya Sukkosi.#Lub 33:17, Zab 89:35
8Gireyaadi wange; Manase wange;
Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange;
Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.#Lub 49:10, Kubal 32:1, Ma 33:17
9Mowaabu kye kinaabirwamu kyange;
Edomu ndimukasukira engatto yange,
Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?#2 Sam 8:1,9; 2:14
11Totusudde, Ayi Katonda?
So totabaala, Ayi Katonda, n'eggye lyaffe.#Zab 44:9
12Otuyambe eri omulabe,
Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.#Zab 146:3
13Katonda ye alitukoza eby'obuzira,
Kubanga oyo ye alinnyirira abalabe baffe.#Zab 44:5; 118:15,16, Is 63:3
Currently Selected:
Zabbuli 108: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.