Zabbuli 103
103
Zabbuli ya Dawudi.
Okutendereza okwagala kwa Katonda okwolubeerera
1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
Ne byonna ebiri munda yange,
mwebaze erinnya lye ettukuvu.#Zab 104:1
2Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
So teweerabira birungi bye byonna:#Ma 6:12
3Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu;
Awonya endwadde zo zonna;#Kuv 15:26; 34:7, Is 33:24, Yer 17:14, Mak 2:5, Luk 7:47
4Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira;
Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi:#Zab 56:13
5Akkusa akamwa ko ebirungi;
Obuvubuka bwo ne budda buggya ng'obw'empungu.#Zab 107:9, Is 40:31
6Mukama akola eby'obutuukirivu,
Asala emisango mu mazima olw'abo bonna abajoogebwa.#Zab 146:7
7Yamanyisa Musa amakubo ge,
N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.#Kuv 33:13; 34:10
8Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa,
Alwawo okusunguwala, alina
okusonyiwa okungi.#Zab 86:15
9Taanenyenga ennaku zonna;
So taabenga na busungu mirembe gyonna.#Is 57:16, Yer 3:5,12, Mi 7:18
10Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri,
So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.#Ezer 9:13
11Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi,
N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.#Zab 117:2, Luk 1:50
12Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala,
Bw'atyo bw'atuggyako ebyonoono byaffe, ne bitubeera wala.#Is 38:17, Mi 7:19
13Nga kitaawe wa baana bw'asaasira abaana be,
Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.#Mal 3:17
14Kubanga amanyi omubiri gwaffe bwe gwakolebwa;
Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.#Lub 3:19, Zab 78:39, Mub 12:7
15Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo;
Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo.#Yob 14:2, Zab 90:5
16Kubanga empewo zikikuntako,
ne kibanga kigenze;
N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.#Yob 7:10, Is 40:7
17Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya,
N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana;
18Eri abo abakwata endagaano ye,
N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.#Ma 7:9
19Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu;
N'obwakabaka bwe bufuga byonna.#Zab 47:2; 93:2, Dan 4:7
20Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be:
Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza by'alagira,
Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye!#Zab 148:2, Mat 6:10, Luk 2:13
21Mumwebaze Mukama,
mmwe mwenna eggye lye;
Abaweereza be, abakola by'ayagala.#Lub 32:2, Dan 7:10, Beb 1:14
22Mumwebaze Mukama,
mmwe mwenna emirimu gye,
Mu bifo byonna by'afugiramu:
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.#Zab 103:1; 145:10
Currently Selected:
Zabbuli 103: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.