1
Zabbuli 103:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna
Compare
Explore Zabbuli 103:2
2
Zabbuli 103:3-5
Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna; Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi: Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda buggya ng'obw'empungu.
Explore Zabbuli 103:3-5
3
Zabbuli 103:1
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
Explore Zabbuli 103:1
4
Zabbuli 103:13
Nga kitaawe wa baana bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
Explore Zabbuli 103:13
5
Zabbuli 103:12
Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atuggyako ebyonoono byaffe, ne bitubeera wala.
Explore Zabbuli 103:12
6
Zabbuli 103:8
Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.
Explore Zabbuli 103:8
7
Zabbuli 103:10-11
Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
Explore Zabbuli 103:10-11
8
Zabbuli 103:19
Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna.
Explore Zabbuli 103:19