Zabbuli 102
102
Okusaba kw'oyo aliko obuyinike, nga bwagala okumutta, n'afuka okwemulugunya kwe mu maaso ga Mukama.
Okusaba Katonda owa mazima
1Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
Okukaaba kwange kutuuke gy'oli.#Kuv 2:23, Zab 39:12
2Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange:
Otege okutu kwo we ndi;
Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu.
3Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka,
N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli.#Kung 1:3, Yak 4:14
4Omutima gwange gwokeddwa,
guwotose ng'omuddo;
Kubanga nneerabira n'okulya emmere yange.#2 Sam 12:17, Is 40:7, Yak 1:10,11
5Olw'eddoboozi ery'okusinda kwange
Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange.#Yob 19:20
6Nninga kimbala ow'omu ddungu;
Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko.#Is 34:11, Zef 2:14
7Ngalamira nga ntunula, era ninga,
Enkazaluggya etuula ku kitikkiro ky'ennyumba yokka.
8Abalabe bange bazibya obudde nga banvuma;
Abanjerega, bakozesa erinnya nga bakolima.#Bik 26:11
9Kubanga ndidde evvu ng'omugaati,
Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga.#Zab 42:3
10Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo:
Kubanga wannonda n'onsuula.
11Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo;
Era mpotose ng'omuddo.#Zab 109:23
12Naye ggwe, Ayi Mukama, onoobeereranga ennaku zonna:
N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.#Kuv 3:15, Zab 135:13
13Oligolokoka, olisaasira Sayuuni:
Kubanga obudde butuuse okumusaasira,
Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse.#Is 60:10, Yer 29:10, Zek 1:12
14Kubanga abaddu bo basanyukira nnyo Sayuuni,
Era basaalirwa okulaba nga bwe kizikiridde.#Nek 4:2
15Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama,
Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo:#1 Bassek 8:43, Zab 138:4, Is 60:3
16Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni,
Alabikidde mu kitiibwa kye;#Zab 147:2, Is 60:1,2
17Alowoozezza ku kusaba kw'abo abafiiriddwa,
So tanyoomye kusaba kwabwe.
18Ekyo kiwandiikirwe ab'emirembe egirijja:
N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama.#Zab 22:31, Is 43:21, Bar 15:4, 1 Kol 10:11
19Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu;
Mukama yalaba ensi ng'asinziira mu ggulu;#Ma 26:15, Zab 14:2
20Okuwulira okusinda kw'omusibe;
Okusumulula abo abateekerwawo okufa;#Zab 79:11
21Abantu balyoke batenderezenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni,
N'ettendo lye mu Yerusaalemi;#Zab 22:22
22Amawanga gonna galikuŋŋaana awamu,
N'amatwale, okusinza Mukama.#Zab 22:27
23Mukama yakendeeza ku maanyi gange nga nkyali muvubuka;
Ennaku zange azisazeeko.#Zab 89:45
24Ne njogera nti Ayi Katonda wange,
tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo:
Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.#Yob 36:26, Zab 90:2, Is 38:10
25 #
Beb 1:10-12
Edda n'edda ennyo watonda ensi;
N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.#Lub 1:1, Yob 38:4-7, Is 42:5
26Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga:
Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo;
Olibiwaanyisa ng'ekyambalo,
n'ebyo biriwaanyisibwa:#Is 34:4; 51:6, Mat 24:35, Kub 20:11
27Naye ggwe oba bumu,
N'emyaka gyo tegirikoma.#Is 41:4, Mal 3:6, Yak 1:17
28Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo.
N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga
mu maaso go.#Zab 37:29; 69:36
Currently Selected:
Zabbuli 102: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.