Zabbuli 100
100
Zabbuli ey'okwebaza.
Okusinza Katonda ne ssanyu
1Muleetere Mukama eddoboozi ery'essanyu, mmwe ensi zonna!#Zab 66:1; 95:1,2
2Muweereze Mukama n'essanyu!
Mujje mu maaso ge n'okuyimba!
3Mumanye nga Mukama ye Katonda:
Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe;
Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye.#1 Bassek 18:39, Yob 10:8,9, Is 43:1, Ez 34:30,31, Bef 2:10
4Muyingire mu miryango gye
n'okwebaza,
Ne mu mpya ze n'okutendereza.
Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
5Kubanga Mukama mulungi;
okusaasira kwe kwa lubeerera;
N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.#Zab 25:8; 106:1
Currently Selected:
Zabbuli 100: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.