YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 101

101
Zabbuli ya Dawudi.
Okubeera omulongoofu
1Nnaayimbanga ku bwesigwa n'amazima:
Ggwe, Ayi Mukama, gwe nnaayimbiranga okukutendereza.#Kuv 34:7
2Nnaatambulanga n'amagezi mu
kkubo ery'obutuukirivu:
Woowe, olijja ddi gye ndi?
Nnaatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.#1 Sam 18:14, 1 Bassek 9:4, Nge 11:20, Yok 14:23
3Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange:
Nkyawa omulimu gw'abo abakyama;
Tegwegattenga nange.#1 Sam 12:20
4Omutima ogutawulira gulindekera ddala:
Sirimanya kintu kyonna kibi.#Nge 17:20, 2 Tim 2:19
5Awaayiririza munne mu kyama,
oyo n'amuzikirizanga:
Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.#Nge 16:5; 21:4
6Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi,
batuulenga wamu nange:
Atambulira mu kkubo ery'obutuukirivu ye anaampeerezanga.#Zab 119:1, Mat 5:48
7Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange:
Ayogera ebitali bya mazima taabeerenga mu maaso gange.
8Buli nkya nnaazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi;
Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.#Zab 46:4; 94:4

Currently Selected:

Zabbuli 101: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 101