YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 99

99
Obwenkanya bwa Katonda
1Mukama ye kabaka afuga; amawanga gakankane!
Atuula ku ntebe ye eri ku bakerubi; ensi esagaasagane!#Zab 80:1; 93:1; 96:9, Is 24:19
2Mukama mukulu mu Sayuuni;
Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.#Zab 113:4, Is 24:23
3Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa.
Ye ye mutukuvu.#Ma 28:58, Yos 24:19, Is 6:3
4Kabaka ow'obuyinza amazima g'oyagala; era osala omusango mu bwenkanya;
Ggwe onyweza obutuukirivu,
Olamula omusango mu mazima n'obutuukirivu mu bantu bo Yakobo.#Ma 32:4, Is 61:8, Yer 23:5
5Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe,
Era musinzizenga ku ntebe ye w'ateeka ebigere bye!
Ye ye mutukuvu!#Kuv 15:2, 1 Byom 28:2, Zab 118:28; 132:7, Is 60:13
6Musa ne Alooni bamu ku bakabona be,
Ne Samwiri yali omu ku abo abakoowoolanga erinnya lye;
Baakaabirira Mukama, n'abayitaba.#Kuv 17:11, Leev 8:12, 1 Sam 7:9, Yer 15:1
7Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire:
Baakwata bye yategeeza, n'ekiragiro kye yabawa.#Kuv 33:9, Kubal 12:5
8Wabaddamu, Ayi Mukama
Katonda waffe:
Wali Katonda abasonyiwa,
Newakubadde nga wawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe.#Kuv 32:35, Kubal 14:20; 20:12, Ma 9:20
9Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe,
Mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu;
Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.#Zab 2:6

Currently Selected:

Zabbuli 99: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 99