Engero 4
4
1Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe,
Musseeyo omwoyo, mulyoke mufune okutegeera:
2Kubanga bye mbayigiriza birungi.
Temuvanga mw'ebyo bye mbayigiriza.
3Bwe nali nkyali mulenzi muto,
Nali muganzi ewa kitange ne mmange.
4Era kitange yanjigirizanga n'aŋŋamba nti:
“Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange;
Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:#Leev 18:5, Is 55:3
5Funa amagezi, funa okutegeera;
Togeerabiranga so tovanga mu bigambo bye nkugamba.#Nge 2:2
6Amagezi togalekanga, nago ganaakukuumanga;
Ogaagalanga nago ganaakulabiriranga.#2 Bas 2:10
7Amagezi kye kintu ekisinga obukulu.
kale funa amagezi:
Mu byonna by'ofuna, beeranga n'okutegeera.
8Gagulumizenga nago galikukuza:
Galikutuusa mu kitiibwa,
bw'onoogawambaatiranga.#Nge 1:9
9Galikutikkira engule ey'ebimuli,
Engule ennungi.”
10Ayi mwana wange,
wulira okkirizenga ebigambo byange;
Olwo lw'oliwangaala emyaka emingi.
11Nkuyigirizza ekkubo ery'amagezi,
Nkulaze amakubo ag'obugolokofu.
12Tewali kinakuziyizanga ng'otambula,
Era bw'onoddukanga teweesittalenga.#Zab 18:36, Nge 3:23
13Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga:
Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
14Toyingiranga mu kkubo ery'ababi,
So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.#Zab 1:1
15Olwesambanga, toluyitangamu.
Lwewalenga, ggwe okwate olulwo ogende.
16Kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola kabi.
otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kabi.#Zab 36:4
17Kubanga bawoomerwa okukola ebibi,
Nga bwe bawoomerwa emmere n'omwenge.
18Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋaanga akasana k'enjuba evaayo,
Akagenda keyongera okwaka okutuuka mu ttuntu.#Yob 11:17; 22:28, Is 62:1, Dan 12:3
19Ekkubo ery'ababi liriŋŋaanga ekizikiza ekikute,
Beesittala ne bagwa, nga tebamanyi kye beesittaaddeko.#1 Sam 2:9, Is 59:9,10, Yer 23:12, Yok 11:10, 1 Yok 2:10
20Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange;
Wuliriza bulungi bye nkugamba.
21Tebivanga ku maaso go,
Bikuumirenga mu mutima gwo.
22Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba,
Era biwonya omubiri gwabwe gwonna endwadde.#Ma 32:47, Nge 8:35
23Weegenderezenga by'olowooza,
Kubanga obulamu bwo, bufugibwa ebyo by'olowooza.#Mak 12:34,35
24Toyogeranga bya bulimba,
Weewalenga okwogera eby'ensonyi.
25Tunula nga wetegerereza ddala gy'olaga,
Tomagamaga#Beb 12:2
26Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo,
Era amagenda go gonna ganywerenga.#Nge 5:6,21, Beb 12:13
27Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono:
Tambuliranga mu bugolokofu, weewalenga okukola obubi.#Ma 5:32
Currently Selected:
Engero 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.