Engero 3
3
1Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza,
Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange.#Ma 8:1
2Kubanga oliwangaala emyaka mingi,
N'obeeranga mu bulamu obw'emirembe.#Zab 119:165, Nge 9:11
3Tosulanga bwesigwa n'amazima.
Bisibenga mu bulago bwo,
Biwandiikenga munda mu mutima gwo.#Zab 85:10, Nge 1:9, Yer 17:1, 2 Kol 3:3
4Bw'otyo bw'onoofunanga okuganja n'okusiimibwa,
Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.#1 Sam 2:26, Luk 2:52, Bar 14:18
5Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna.
So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.#Zab 37:3, Yer 9:23
6Mwatulenga mu makubo go gonna,
Naye anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.#1 Byom 28:9, Yer 10:23
7Teweefuulanga mugezi mu maaso go ggwe,
Tyanga Mukama, era ovenga mu bubi.#Yob 28:28, Bar 12:16
8Ekyo kye kinaabanga eddagala eriwonya ebiwundu byo,
Era erikkakkanya okuluma kw'amagumba go.
9Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo,
N'ebibereberye ku bibala byo byonna.#Kuv 23:19
10Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera,
N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.#Ma 28:8
11Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama,
So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya.#Ma 8:5, Yob 5:17, 1 Kol 11:32, Beb 12:5,6, Kub 3:19
12Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula,
Era ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala.
13Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi.
N'oyo afuna okutegeera.
14Kubanga ga muwendo okusinga ffeeza
N'amagoba gaago gasinga zaabu ennungi.#Yob 28:15-18, Nge 8:10,11
15Ga muwendo mungi okusinga amayinja ag'omuwendo.
Era tewali kintu ky'oyinza okwegomba okugeraageranya nago.
16Amagezi gakuwangaaza,
ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa.#Nge 8:18
17Amagezi gakuwa obulamu obweyagaza,
N'eŋŋendo zaago zonna mirembe.
18Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata:
Era alina omukisa buli muntu abeera nago.#Lub 2:9; 3:22, Kub 2:7; 22:2
19Mukama mu magezi mwe yatondera ensi,
mu kutegeera mwe yassizzaawo eggulu.#Zab 104:24; 136:5, Nge 8:27
20Mu kumanya kwe amazzi gafubutuka okuva wansi,
Ne bire ne bitonya enkuba.#Lub 7:11, Ma 33:28, Yob 38:8
21Mwana wange, weekwatenga amagezi amatuufu,
N'okusalawo okulungi,
22Ebyo birikuwa obulamu,
N'ebirongoosa embeera zo.#Ma 32:47, Nge 1:9
23Olwo olitambula mu kkubo lyo mirembe,
So n'ekigere kyo tekiryesittala.#Zab 91:11,12
24Bw'onoogalamiranga okwebaka tootyenga,
Oneebakanga otulo ne tukuwoomera.#Leev 26:6, Yer 31:26
25Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde,
Wadde okuzikirira kw'ababi bwe kujjanga.#Yob 5:21, Zab 91:5
26Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo,
Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa.
27Tommanga birungi abo abagwanira,
Bwe kibanga mu buyinza bwo okukikola.#Bag 6:10
28Togambanga muliraanwa wo nti, “ Genda okomewo,
Nakuwa enkya,”
Bw'obanga eky'okumuwa okirina.#Leev 19:13, Ma 24:15
29Totegekanga kukola munno kabi,
Ng'ali naawe mirembe.
30Toyombanga na muntu awatali nsonga,
Nga taliiko kabi k'akukoze.
31Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali,
Era tosalangawo kukola nga ye by'akola,#Zab 37:1
32Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama:
Naye abalongoofu abamanyisa ekyama kye.#Yob 29:4
33Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi:
Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.#Yob 8:6, Zek 5:4
34Mazima anyooma abanyoomi,
Naye awa abeetoowaze ekisa.#Zab 18:26, Yak 4:6, 1 Peet 5:5
35Ab'amagezi balisikira ekitiibwa:
Naye abasiru balifuna okuswazibwa.#Baf 3:19
Currently Selected:
Engero 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.