1
Engero 4:23
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Weegenderezenga by'olowooza, Kubanga obulamu bwo, bufugibwa ebyo by'olowooza.
Compare
Explore Engero 4:23
2
Engero 4:26
Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga.
Explore Engero 4:26
3
Engero 4:24
Toyogeranga bya bulimba, Weewalenga okwogera eby'ensonyi.
Explore Engero 4:24
4
Engero 4:7
Amagezi kye kintu ekisinga obukulu. kale funa amagezi: Mu byonna by'ofuna, beeranga n'okutegeera.
Explore Engero 4:7
5
Engero 4:18-19
Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋaanga akasana k'enjuba evaayo, Akagenda keyongera okwaka okutuuka mu ttuntu. Ekkubo ery'ababi liriŋŋaanga ekizikiza ekikute, Beesittala ne bagwa, nga tebamanyi kye beesittaaddeko.
Explore Engero 4:18-19
6
Engero 4:6
Amagezi togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulabiriranga.
Explore Engero 4:6
7
Engero 4:13
Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
Explore Engero 4:13
8
Engero 4:14
Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.
Explore Engero 4:14
9
Engero 4:1
Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Musseeyo omwoyo, mulyoke mufune okutegeera
Explore Engero 4:1