Engero 31
31
Ebigambo bya kabaka Lemweri (31:1-9)
1Ebigambo bya kabaka Lemweri;
nnyina bye yamuyigiriza.#Nge 30:1
2Kiki, mwana wange? Era kiki, ayi mwana w'olubuto lwange?
Era kiki, ayi mwana w'obweyamo bwange?
3Amaanyi go, togamaliranga ku bakazi;
Newakubadde amakubo go kubanga bazikiriza ne bakabaka.#Ma 17:17, 1 Bassek 11:1,4, Nek 13:26
4Si kwa bakabaka, ayi Lemweri,
si kwa bakabaka okunywanga omwenge;
So si kwa balangira okunoonyanga ekitamiiza.#1 Bassek 20:16, Mub 10:17, Kos 4:11
5Balemenga okunywa ne beerabira amateeka,
Ne basaliriza abantu abanyigirizibwa.#Is 5:22,23
6Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa,
N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike:#Zab 104:15
7Anywenga yeerabirenga obwavu bwe,
Alemenga okujjukira nate ennaku ye.
8Yogereranga abatalina bwogerero,
Olwanirirenga abataliiko mwasirizi.#Yob 29:12,15,16, Is 1:17
9Yogeranga, osalenga emisango mu bwenkanya,
Olwanirirenga abaavu n'abali mu bwetaavu.#Leev 19:15, Ma 1:16, Yer 22:16, Zek 7:9,10, Yok 7:24
Omukyala omwegendereza (31:10-31)
10Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Kubanga omuwendo gwe gusingira wala amayinja ag'omuwendo ennyo.#Nge 12:4
11Omutima gwa bba gumwesiga,
Era aba wa mugaso gy'ali.
12Ayisa bulungi bba,
Ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba,
N'akola emirimu n'engalo ze n'essanyu.
14Ali ng'amaato ag'abasuubuzi;
Emmere ye agiggya wala.
15Era agolokoka ku makya nga tebunnalaba,
N'awa ab'omu nnyumba ye eby'okulya,
N'agabira abawala be emirimu gyabwe.#Nge 20:13, Mat 24:45, Luk 12:42
16Alowooza ennimiro n'agigula:
Asimba olusuku olw'emizabbibu n'emikono gye.
17Anyiikira okukola n'amaanyi,
Ng'akozesa emikono gye.
18Alaba omugaso gw'ebyo by'akola,
Ettaala ye tezikira kiro.
19Yeerangira ewuzi ze,
ye yennyini n'aluka engoye ze.
20Wa kisa eri abaavu,
Era ayamba abali mu bwetaavu.
21Obudde obunnyogovu tabutya,
Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna abambaza ne babuguma.#2 Sam 1:24
22Yeetungira engoye ennungi;
Ayambala ziri ezinnyirira eza siriki.
23Bba amanyibwa mu miryango,
Bw'atuula mu bakadde ab'ensi.#Luus 4:1,2
24Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda;
Akola n'enkoba n'aziguza omusuubuzi azeetaaga.
25Wa maanyi era wa kitiibwa,
Teyeralikirira biseera bya mu maaso.
26Ayogera n'amagezi;
Era ayigiriza n'ekisa.
27Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye,
Era si mugayaavu.
28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa;
Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti,
29Abakazi bangi abakola eby'okwegendereza,
Naye ggwe obasinga bonna.
30Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa;
Naye omukazi atya Mukama y'anaatenderezebwanga.#Nge 11:16
31Mumuwenga kw'ebyo by'akoleredde;
Atenderezebwenga mu miryango.
Currently Selected:
Engero 31: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.