Omubuulizi Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kino, kigezaako okunoonya amakulu g'obulamu. Omuntu ayinza kukola ki okumalibwa mu bulamu n'okubusanyukiramu? Obulamu bwo bugasa ki? Okunoonyereza kuno kutandika n'ekifaananyi ekitasanyusa era nga kiraga nti: obulamu bujjudde ennaku era tebulina makulu, bulinga kugoba mpewo. Omubuulizi agerageranya obulamu mu mitendera ne mu bikolebwa eby'enjawulo, okulaba oba nga mu byo amakulu n'omugaso gw'obulamu biyinza okuzuulibwa. Ekitabo era kitulaga nti; nga abantu kizibu nnyo okutegeera amakulu g'obulamu, ate era nti, obulamu bumpi, era mu bwo temuli bwenkanya. Wadde kino kiyinza okwenyamiza, naye Omubuulizi alaga nti ebintu ebimu mu bulamu birungi okusinga ebirala; okugeza, kirungi okubeera n'amagezi, okusinga okubeera omusiru. Omubuulizi alaga nti ekigendererwa kya Katonda kiri nti; buli omu asanyukire era yeyagalire mu mirimu gy'akola, mu by'okulya, mu by'okunywa, mu mikwano ne mu bufumbo. Ekisinga obukulu kwe kugondera Katonda n'okumusaamu ekitiibwa. kubanga Katonda alitusalira omusango mu byonna byetukola, ebirabika ne by'omu kyama oba nga birungi oba bibi. Ekitabo kino kyawandiikibwa awo nga mu 935 BC.
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1-3).
II. Obulamu obutalimu (1:4—2:26).
III. Buli kintu kirina ekiseera kyakyo (3:1-8).
IV. Okutya Katonda omuyinza wa buli kimu (3:9-15).
V. Ebirala ebiraga obutalimu (3:16—4:16).
VI. Okutya Katonda omutukuvu era omutuukirivu (5:1-7).
VII. Obulamu wansi w'enjuba (5:8—7:24).
VIII. Ekibi ensibuko y'obuzibu bwonna (7:25-29).
IX. Obulamu nate wansi w'enjuba (8:1—12:8).
X. Okufundikira (12:9-14).
Currently Selected:
Omubuulizi Ennyanjula: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.