Engero 30
30
Ebigambo bya Aguli (30:1-33)
1Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; bye yayogera.
Omusajja agamba Isyeri ne Ukali;#Nge 31:1
2Nti Mazima ndi muntu asingayo obusiru,
So sirina kutegeera kwa muntu:#Zab 73:22
3So siyiganga magezi,
So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu.
4Ani eyali alinnye mu ggulu ate n'avaayo n'akka?#Yob 26:8, Zab 104:3,4, Yok 3:13, Lub 19:12
Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi
Erinnya lye y'ani,
n'omwana we erinnya lye y'ani, oba ng'omanyi?
5Buli kigambo kya Katonda kituukirizibwa,
Aba ngabo eri abo abamwesiga.#Zab 18:30
6Toyongeranga ku bigambo bye,
Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba.#Ma 4:2
7Nkusabye ebigambo bibiri;
Obimpe nga sinnafa:
8Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange:
Tompanga bwavu newakubadde obugagga;
Naye ompenga emmere gye nneetaaga.#Mat 6:11
9Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama y'ani?
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
Ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange.#Kuv 5:2; 20:7, Ma 8:12,14
10Towaayirizanga muddu eri mukama we,
Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango.#Zab 15:3
11Waliwo abantu abakolimira bakitaabwe,
So tebasabira bannyaabwe mukisa.#Kuv 21:17
12Waliwo abantu abalowooza nti balongoofu;
Era naye nga tebanaazibwangako bibi byabwe.#Nge 16:2, Is 65:5, Luk 18:11, Kub 3:17
13Waliwo abantu, abalowooza nti bo ba waggulu nnyo,
Era ne balowooza nti be basinga abalala bonna.#Zab 101:5
14Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala,
n'amasongezo gaabwe bwambe,
Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.#Zab 14:4, Am 8:4
15Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa.
Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna,
Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
16Amagombe; n'olubuto olugumba;
N'ensi enkalu;
N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo.#Lub 30:1
17Amaaso g'oyo anyooma kitaawe,
N'agooyo agaana okuwulira nnyina,
Gasaanye gaggyibwemu bi Nnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu,
Era gabojjogolwe ensega.#Lub 9:22, Nge 23:22, Yer 16:4
18Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo
ebyannema okutegeera,
Weewaawo, biri bina bye ssimanyi:
19Ekkubo ery'empungu mu bbanga;
Ekkubo ery'omusota ku lwazi;
Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja;
Omukwano gw'omusajja n'omuwala.
20Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi;
Olumala okwenda, anaaba neyewoomya,
Olwo n'agamba nti, “Siriiko kibi kye nkoze.”
21Ensi ekankanira ebigambo bisatu,
Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza:
22Omuddu bw'aba kabaka;
N'omusiru bw'akkuta emmere;#Nge 19:10
23Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa;
N'omuzaana asikira mugole we.
24Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi,
Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:
25Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi,
Naye byeterekera emmere yabyo mu kyeya.#Nge 6:6-8
26Obumyu busolo bunafu,
Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja.#Zab 104:18
27Enzige tezirina kabaka,
Naye zibuukira mu bibinja.#Yo 2:7,8
28Omunya gukwata n'engalo zaagwo,
Naye gubeera mu mbiri za bakabaka.
29Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo,
Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:
30Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi,
So tewali gy'esegulira yonna;
31Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume;
Ne kabaka ali n'eggye lye.
32Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza,
Oba ng'olowoozezza obubi,
Osirikanga n'olowooza;#Mi 7:16
33Kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo,
N'okunyigiriza ennyindo nga bwe kuleeta omusaayi:
N'okusitula obusungu, bwe kutyo kuleeta oluyombo.
Currently Selected:
Engero 30: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.