YouVersion Logo
Search Icon

Engero 26

26
1Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu,
N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru.#1 Sam 12:17
2Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako,
Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.#Kubal 23:8, 2 Sam 16:12
3Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi,
N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru.#Zab 32:9, Nge 19:29
4Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli,
Era naawe olemenga okumufaanana.#2 Sam 16:11
5Oddangamu omusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli,
Alemenga okulowooza nti wa magezi.#Mat 16:1-4; 21:24-27, Bar 12:16
6Atuma omusiru okutwala obubaka,
Aba ng'eyeesalako ebigere, era yeereetera mitawaana.
7Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu,
Kiri ng'omulema okukozesa,
Amagulu ge agaleebeeta obuleebeesi.
8Ng'ensawo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja,
Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusiru.
9Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu,
Kiri ng'omutamiivu okugezaako okwetundula eriggwa mu kibatu kye.
10Ateekawo omusiru okumukolera omulimu,
Oba buli muyise gw'asanze obusanzi,
Aba ng'omulasi w'obusaale, alasa buli muntu.
11Ng'embwa edda ku bisesemye byayo,
Bw'abeera bw'atyo omusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.#2 Peet 2:22
12Olaba omuntu eyeeyita omugezi mu kulowooza kwe ye?
Omusiru amusinga.#Nge 29:20
13Omugayaavu ayogera nti, “Waliwo empologoma mu kkubo,
Empologoma eri mu nguudo.”#Nge 22:13
14Ng'oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,
Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye.
15Omugayaavu akoza emmere mu kibya;
Ne kimukooya okugiteeka mu kamwa.#Nge 19:24
16Omugayaavu alowooza nti mugezi okusinga abantu omusanvu,
Aboogera batereeza ensonga.#Nge 26:5
17Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako,
Aliŋŋaanga akwata ku matu g'embwa gy'atamanyi;
18Ali ng'omulalu akasuka amanda agaaka omuliro,
Oba obusaale n'ebissi ebirala.
19N'oyo omuntu alimba munne,
N'agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi,” bw'atyo bw'aba.
20Ng'okumalawo enku bwe kuzikiza omuliro,
N'omugeyi bw'avaawo,
okuyomba kuggwaawo.
21Ng'amanda n'enku ebyongerwa mu kyoto, bwe bikoleeza omuliro,
Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo.#2 Sam 20:1, Nge 15:18
22Ebigambo by'ow'olugambo biwooma
Ng'emmere ekka mu lubuto.#Nge 18:8
23Ebigambo ebiwoomerevu ebiva mu mutima omubi
Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza.#Mat 23:27, Luk 11:39
24Omuntu alina obukyayi akuusakuusa mu bigambo bye,
Atereka obubi mu mutima gwe.
25Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga:
Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu:#Zab 28:3
26Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa,
Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina.
27Buli asima obunnya, aligwa omwo:
N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.#Zab 7:15, Nge 28:10
28Omulimba akyawa abo baalimba;
N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.

Currently Selected:

Engero 26: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in