YouVersion Logo
Search Icon

Engero 25

25
Keezeekiya bye yakuŋŋaanya ku ngero za Sulemaani (25:1—29:27)
1Era na zino ngero za Sulemaani,
abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika.#Nge 1:1
2Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda:
Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka.#Ma 29:29, Bar 11:33
3Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi.
Ne kabaka by'alowooza bizibu okumanya.
4Ggyangamu amasengere mu ffeeza,
Omuweesi anaakuweesezamu ekintu.#Mal 3:2,3
5Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka,
N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu.#Nge 16:12
6Teweekuza mu maaso ga kabaka,
Era teweeteekanga mu kifo ky'abakulu.#Luk 14:8-11
7Kiba kirungi okukuyita nti, “Sembera eno,”
Okusinga okutoowazibwa mu maaso g'omulangira,
Amaaso go gwe galabye.
8Toyanguyirizanga kuwaaba,
Ku nkomerero oyinza okubulwa eky'okwogera,
Munno ng'akuswazizza.#Mat 5:25, Luk 12:58
9Wozanga ensonga yo ne munno yennyini,
So tobikkulanga kyama kya munno.#Mat 18:15
10Akiwulira alemenga okukusunga,
N'osigala ng'oswadde.
11Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye
Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.#Nge 15:23
12Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'eky'obuyonjo ekya zaabu ennungi,
Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda.#Nge 15:31
13Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu,
Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma;
Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,#Nge 13:17
14Ng'ebire n'empewo awatali nkuba,
Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba.#Nge 20:6, Yud 12
15Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu,
N'olulimi olugonvu lumenya eggumba.#Nge 16:14, Mub 10:4
16Olabye omubisi gw'enjuki?
Lyangako ogunaakumala obumazi;
Olemenga okugukkuta n'ogusesema.
17Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno;
Alemenga okukunyiwa n'akukyawa.
18Omuntu awaayiriza munne
Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi.#Nge 24:28
19Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku
Kuli ng'erinnyo erimenyese n'okugulu okusowose.
20Okuyimbira omuntu ali mu nnaku,
kuba ng'omuntu okweyambulamu engoye, mu budde obw'empewo,
Oba okusiiga omunnyo mu kiwundu.
21Omulabe wo bw'alumwanga enjala,
omuwanga emmere ey'okulya;
Era bw'alumwanga ennyonta omuwanga amazzi okunywa:#2 Bassek 6:22, Mat 5:44, Bar 12:20
22Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe,
Era Mukama alikuwa empeera.
23Okugeya kuleeta obusungu,
Ng'embuyaga ez'obukiikakkono, bwe zireeta enkuba.
24Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba,
N'otaba na mukazi muyombi mu nnyumba engazi.#Nge 21:9
25Okuwulira amawulire amalungi agava mu nsi ey'ewala,
Kuli ng'okunywa amazzi amannyogovu ng'obadde olumwa ennyonta.
26Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese,
Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bweyekkiriranya n'omubi.
27Nga bwe kitali kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi:
Bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya ekitiibwa.#Nge 27:2
28Omuntu atasobola kweziyiza;
Ali ng'ekibuga ekirumbiddwa nga tekiriiko bbugwe.

Currently Selected:

Engero 25: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in