1
Engero 26:4-5
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana. Oddangamu omusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okulowooza nti wa magezi.
Compare
Explore Engero 26:4-5
2
Engero 26:11
Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.
Explore Engero 26:11
3
Engero 26:20
Ng'okumalawo enku bwe kuzikiza omuliro, N'omugeyi bw'avaawo, okuyomba kuggwaawo.
Explore Engero 26:20
4
Engero 26:27
Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.
Explore Engero 26:27
5
Engero 26:12
Olaba omuntu eyeeyita omugezi mu kulowooza kwe ye? Omusiru amusinga.
Explore Engero 26:12
6
Engero 26:17
Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako, Aliŋŋaanga akwata ku matu g'embwa gy'atamanyi
Explore Engero 26:17