Engero 27
27
1Teweenyumirizanga lwa bya nkya;
Kubanga tomanyi bwe binaaba ku lunaku olwo.#Luk 12:19,20, Yak 4:13,14
2Leka omulala akutenderezenga,
Oba omugenyi, so si ggwe kwetendereza.#Nge 25:27, 2 Kol 10:18
3Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito;
Naye emitawaana egireetebwa omusiru, gibisinga byombi obuzito.#Nge 17:12
4Obusungu bukambwe, n'ekiruyi kizikiriza;
Naye tebyenkana buggya.#Nge 6:34
5Akubuulira ensobi yo mu lwatu
Akira agikukweka ng'ayagala okukulaga nti akwagala.#Nge 28:23, Bag 2:14
6Weesige mukwano gwo akunenya,
Naye sso si mulabe wo akuwaana.#Zab 141:5
7Emmeeme ekkuse etamwa omubisi gw'enjuki:
Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.#Nge 25:16
8Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo,
Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.#Nge 26:2
9Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima:
Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okwo mu mwoyo gwe.
10Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga;
So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike:
Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.#1 Bassek 12:6, Nge 17:17
11Mwana wange, beeranga n'amagezi onsanyusenga;
Ndyokenga nfune kye nziramu oyo anvuma.#Zab 119:42, Nge 10:1
12Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja n'akeewala;
Naye atalina magezi, akatambaala, ate neyejjusa oluvannyuma.#Nge 22:3
13Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi;
Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.#Nge 20:16
14Azuukuka ku makya ennyo n'aleekaana okulamusa munne,
Abalwa ng'amukolimira.
15Omukazi omuyombi,
Alinga enkuba ennyingi, etonnya nga tekya.#Nge 19:13
16Okumuziyiza kuba nga kuziyiza mpewo ekunta;
Oba kiringa okukwata amafuta,
mu mukono.
17Ng'ekyuma bwe kiwagala kinnaakyo,
Bw'atyo n'omuntu bw'ayigiriza muntu munne.
18Buli alabirira omutiini anaalyanga ku bibala byagwo;
N'oyo aweereza mukama we, anaassibwangamu ekitiibwa.#Mat 20:6, Mat 25:21, 1 Kol 3:8; 9:7
19Ng'omuntu bwe yeeraba ng'atunudde mu mazzi,
Bwe gutyo omutima gwe bwe gumwoleka bw'ali.
20Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna;
N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.#Nge 30:15,16, Mub 1:8; 4:8
21Entamu erongoosa ya ffeeza n'ekikoomi kya zaabu,
N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza.#Nge 17:3
22Omusiru ne bw'omukuba okujula okumutta obussi,
Obusiru bwe tebumuvaako.
23Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri,
Okeberanga nnyo ente zo:
24Kubanga obugagga si bwa lubeerera;
Era engule tesikirwa mirembe gyonna.#Nge 23:5
25Omuddo bwe gukala,
n'omulala ne gumera,
N'ogw'okunsozi ne gukuŋŋaanyizibwa,#Zab 90:5,6
26Lw'olyekolera eby'okwambala, mu byoya by'endiga zo;
N'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja.#1 Tim 6:8
27Onoofunanga amata agakumala ggwe n'ab'omu nnyumba yo,
Ne ganywebwako n'abakozi bo.
Currently Selected:
Engero 27: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.